Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Ab’ekitongole ekirunggamya eby’empuliziganya mu Ggwanga-UCC, basisinkanye abazannyi ba filimu nebanna bitone abalala mu bitundu by’e Masaka, okubasomesa ku Mateeka n’ebisoso egyirunggamya omulimu n’ebiyiiye byaabwe, nebakukkulumira ekitongole kino obutakola kimala Kutumbula mulimu gwaabwe n’okubayamba okugenda mu Maaso.

Abazannyi bano nga bakulembeddwaamu bannaabwe okuli Lwanga Francis Junior, Namugera Vicent, Sulaiman Mutagubya, Jane Nampita n’abalala, basinzidde Masaka nebemulugunya olwa UCC obutabateekateeka kimala n’okubasomesa nga tebannamateerawo Mateeka nabukwakkulizo bukakkali byebalina okugoberera wakati mukukola omulimu gwaabwe. Bano bagamba nti omusolo n’emisoso gyebatadde kubebinda ne Library ababyamba okutunda ebiyiiye byaabwe, bibalemesa okubaako webatuuka, ebikozesebwa mukukola film n’ebiyiiye ebirala bya Buseere sso nga n’ebimu balemererwa okubifuna olw’obutamanya gyebiri, ekitta omutindo.
Bano ssibamativu nekubukwakkulizo obulina okutuukirizibwa wakati nga bategeka ebivulu n’okutunda ebintu byaabwe nebitone byeboleesa okusanyusa, okusomesa, okuweesa eggwanga ettutumu n’ekitiibwa, ssaako okulisakira ensimbi nga nabo webanoonya obusobozi okweyimirizaawo. Bagala ne Gavumenti ng’eyita mu UCC, okubateerawo emikutu gya TV n’emikutu emirala okugula film zaabwe n’ebiyiiye ebirala, basobole okufuna ku nsimbi ezagasa mu kifo ky’abakulu okuntinkiza n’okuguza banna Uganda eby’ebweru.


Abakungu okuva mu UCC nga bakulembeddwaamu Meddie Kaggwa avunaanyizibwa kuby’empuliziganya, balambise banna bitone ng’ebitone byaabwe n’ebiyiiye byebakola bweguli omulimu ogwannamaddala oguweesa eggwanga ekitiibwa n’okujjamu ensimbi, n’olwekyo nga basaanidde okumanya amateeka agabalungamya n’okugagoberera. Banno bawadde abazannyi ba Film nebanna Katemba Essuubi, nti Gavumenti nnetegefu okutambulira awamu nabo, okubavujjirira, okubawanga emisomo era n’okukuuma ebiyiiye byaabwe naddala ku Tteeka lya COPYRIGHT, era nga baba n’olukusa okuwawaabira abakozesa ebiyiiye byaabwe mu ngeri enkyamu, n’ababibba okubikolamu ensimbi nga tebalina Lukusa.
Omubaka wa Gavumenti Atuula mu Kibuga Masaka Steven Asiimwe, n’omubaka wa Gavumenti mu district y’e Masaka Teopista Lule Ssenkungu, beebagguddewo Omusomo nebakaalatira abalina ebitone okubeera abesimbu, okugoberera Amateeka n’okubeera n’empisa, okwewala okuwabya, okusasamaza, n’okuleetawo obukyankalano, era nebabasaba okuyamba ennyo Gavumenti, okusomesa abantu ku Mpisa ennungi ate n’okutunda enteekateeka za Gavumenti mu Bantu ababakkiririzaamu.
