Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Manager wa bbanka y’obwakabaka eyabannabibiina by’obwegassi eya BUDDU CBS PEWOSA SACCO Angella Mercy Nakayiza, ategeezezza ng’ekiluubirirwa ky’obwakabaka ekikulu eky’okukomyawo obwegassi bwekyolekedde okutuukirira mu Bitundu by’e Buddu, nti kubanga abantu bettanidde okukola ebibiina n’okugoberera enkola ya SACCO.

Ono abadde asinzidde ku Kitebe ekikulu ekya BUDDU CBS PEWOSA SACCO ekisangibwa mu Kibuga Masaka, mukukwasa abakozi abapya abaweereddwa obuvunaanyizibwa okukunga abantu okwongera okunnyikiza okukola obw’egassi nga bayita mu bibiina byebatandise mu Bitundu byaabwe, n’ategeeza nga bwebali kukaweefube okutuuka ku bantu ba Kabaka bonna gyebali newansi ku muntu asembayo batambulire wamu nabo mu Lutalo lw’okukyusa embeera zaabwe naddala muby’enfuna.
Ono era ategeezezza nga bwebakanye nekaweefube ow’okubuna amasaza gonna agetoolodde Buddu omuli Kooki, Mawogola, Ssese ne Kabula, ng’abasomesa abantu kukutandikawo emirimu egy’enjawulo n’okugaziya egyo gyebalina, basobole okugaggawala n’okulinyisa omutindo gw’ebyo byebakola, okutambulira awamu n’ebiruubirirwa by’obwakabaka ebikulu.
