Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Abantu ba Kabaka mu Ssaza Buddu N’okusingira Ddala Mukibuga Masaka wamu nemumakubo agayingira Ebitundu by’e Buddu, basuze Babinuka Masejjere, okukuba Embuutu n’okuyimba Ennyumba ezitendeereza Buganda, Nga Beetegekera okwaniriza Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi Ow’okubiri, eyasiimye okulabikako Eri Obuganda, ng’aggulawo empaka z’amasaza ga Buganda 2022.

Obwakabaka bwa Buganda Nga Buyita Mu Katikkiro Charles Peter Mayiga, wamu ne Minisita w’ebyamawulire, abagenyi era Omwogezi w’obwakabaka ow’ekitiibwa Noah Kiyimba, bwaakakasizza Nga Bwewatakyaali Kubuusabuusa Nate, Beene asiimye alabikeko Eri Abantu be, ng’aggulawo Empaka z’amasaza ga Buganda mu Kisaawe Kya Masaka Recreational Grounds Nga Buddu ettunka ne Mawogola.
Ebiyitirirwa bingi Bizimbiddwa, era Bannabuddu basuze mu bikujjuko.
Zo Ttiimu zombiriri zeewera buli Emu okumegga gyinnaayo mu Maaso g’empalabwa.
Ttiimu ya Buddu etendekebwa Steven Bogere, eyabatuusa kubuwanguzi omwaka oguwedde.



