Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Bannakyeewa abatakabanira okutaasa n’okukuuma obutonde bw’ensi mu Bitundu eby’e Masaka mu Buddu, bakkukkulumidde Gavumenti n’ekitongole eky’ebyenguudo mu Ggwanga, okutemula omuti gw’ekika ky’ebeddira Lugave NABUKALU ogubadde gusangibwa e Mabuye Mpigi mu Mawokota.

Bano babadde basisinkanye okukubaganya ebirowoozo ku ngeri y’okulondoola n’okutaakiriza ebintu eby’enkizo ebiyamba okukuuma obutonde omuli Emiti, ebibira, Entobazi n’ebirala, nebagamba nti ng’ojjeeko okutyoboola ekitiibwa kya Buganda n’obuwangwa bw’ebeddira Olugave, kyabadde tekisaana kusaanyawo Muti gusoba mu myaka 200 nga Tewali mulala gugufaanana, ate nga weguli babadde basobola okugwewaala wakati mukukola oluguudo lwaabwe nebagulekawo okukuuma obutonde n’ebyobulambuzi.

Atwala eby’okukuuma obutonde bw’ensi mu district y’e Masaka Rose Nakyeejwe, asaasidde ab’olugave okujjibwako ekintu kyaabwe ekitalina muwendo, neyewuunya Omulamuzi eyabaliridde Omuti ogukuumiddwa emyaka egyisoba mu 200, ogutali wantu walala wonna mu Uganda, ye n’aguwa obukadde buna okugusaanyawo!!
Antonio Kalyango nga ye Ssenkulu w’ekitongole ekirwaanirira obutonde bw’ensi e Masaka ekya Biodiversity Conservation Foundation-BCF, agambye nti baakubakana n’eddimu okunoonya eby’obutonde eby’enkizo mu Masaka, bakuume ebiwandiiko byaabyo olwo balinde okwangganga eyeyita Omuzira Namige anajja okubitambaala.
