Bya Boniface Kizza
Bannabyamizannyo e Masaka babakanye neddimo lyokunoonya abaana abobuwala nga kwotadde n’abakyala okwenyigira mubyemizannyo nga omu kukawefube wokutumbula ebyemizannyo bya abakyala byebagamba nti birekeddwa nnyo emabega.

Bannabyamizannyo bano nga bakulembeddwamu Lubowa Ssebina Gyaviira bagamba nti kano kekaseera n’ebyemizannyo byabaana abawala nabyo okufirwako eranga kino bakitandikidde nakutegekawo tonamenti yabaana abawala eyokubaka nga bano bavuganyizza okusinziira kubyalo byabwe.
Lubowa Ssebina agamba nti kino kyakwongera ettutumu mu muzannyo guno oba olyawo nokubongerayo okuvuganya kumitendera egitali gimu .
Ye atwala ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Kalungu Kayinga Kezironi Tadeo agambye nti nabo nga abebyenjigiriza kawefube gwebaliko kwekwagazisa abaana ebyemizannyo naddala nga bakyali mu masomero.Ono ayongeddeko okulaga kutya olwokusulirira omuzannyo gwokubaka atenga gulimu ensimbi nnyingi.
Kayinga Isma nga ono ye ssentebe wabavvubuka muggombolola Mukiise mituba esatu (3) Mukungwe agambye nti kati nabo bafunye essuubi nga abeggombolola eno kubanga babadde balekeddwa nnyo emabega mubyemizannyo.
Abamu kubakyaala betwogeddeko nabo batubulidde kubiki byebasubira oluvvanyuma lwokwenyigira mubyemizannyo.
