Bya Boniface Kizza
Ekitongole ekigatta abantu abaliko obulemu ngera bawangaala nakawuka kamukenenya ki Masaka Asocciation Of Disabled Persons Living with HIV And AIDS (MADIPHA) kibakanye neddimo lyokusomesa bannamawulire kubutya bwebalina okukozesa ebigambo ebyenjawulo ngomu kukawefube wokumalawo ebigambo ebirengeza abantu abaliko obulemu nokubatyoboola.

Omusomo guno gubumbujidde ku Maria flo Hotel mukibuga Masaka bano nga bakulembeddwamu Walugembe Joseph nga yabadde omusomesa omukulu bategezezza nga bannamawulire bangi ensangi zino bwebazze bakozesa ebigambo ebityoboola wamu nokuyisaamu abaliko obulenu amaso ekivirako bangi okuggwamu esuubi nokweraba ngabatalina mugaso.
Ono ayongeddeko nga kawefube ono gwebatandise owokubangula bannamawulire bwagenda okukyusa ensobi ezizze zikolebwa kumikutu gyamawulire egitali gimu wamu nokusosowaza emirimo emirungi egikolebwa abantu bano.
Abamu kubannamawulire abetabye musomo guno nga bakulembeddwamu Kyanjo Richard,Nsubuga Robert nabalala bategezezza nga bwebeyongedde okumanya olulimi olukozesebwa kubantu abaliko obulemu nokwewala olwo olubatyoboola.
Ssenkulu (Excutive Director) wa Masaka Asocciation Of Disabled Persons Living with HIV And AIDS Musisi Richard anyonnyodde kubimu ebyabaviriddeko okutegeka omusomo guno nga mwemuli abantu babulijo kko nebannamawulire abasusse okukozesa olulimi olujerega noluvvola abantu abaliko obulemu ekintu kyagambye kibaletera okuba ekyennyinyalwa mubitundu gyebawangalira.
