Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Bannamawulire mu bitundu by’e Masaka beesaze akajegere, bataamidde President w’ekibiina ekibagatta ki South Buganda Journalists Association-SOBUJA Ssozi Ssekimpi Lwazi gwebalumiriza okweremeza mu buyinza, n’okwekomya ebintu by’ekibiina.

Bano bagamba nti ekisanja kya Ssozi kyaggwaako dda, n’alemererwa okutegeka okulonda okupya, n’atuuka n’okukyusa ebiwandiiko by’ekibiina kyaabwe bweyasalawo okukiwandiisa nga Kkampuni ey’obwannanyini “Private Limited Company”
Munnamawulire wa NBS Farish Magembe, omu kubakulembeze ba SOBUJA abaalondebwa mu Kiseera ky’ekimu ne Ssozi era nga Musaale kubalwana okulaba ng’ekibiina kifuna obukulembeze obupya n’okutereeza entambuza yaakyo ey’emirimu okusobola okugasa abamawulire mu Bitundu Greater Masaka, atugambye nti Ssozi bamutwala mu Mbuga z’amateeka azze ebintu by’ekibiina, nga n’okwezza obwannanyini bw’akyo gw’egumu kumisango gy’agenda okuwerennemba nagyo.
Ssozi Ssekimpi ayogerwako ng’ono yalangirira ennaku entono eziyise nti awumudde eby’okukola amawulire n’okutwala mu Maaso obukulembeze bwa SOBUJA, awuliddwaako ng’emirimu akyagyikola bukwakku era bwetwogeddeko naye ku nsonga eno, eddoboozirye liwulikise nga Livumbeera olw’okubulwa ekituufu ky’atunnyonnyola!!
