Bya Elisa Nicholas Ssekitende.
Mukutandika ekisiibo eri abakkiriza mu Christo olwaleero, Rev.Fr.Andrew Kalema okuva mu kigo kya Centenary Parish e Ssembabule, akulembeddemu misa ey’okusiiga vvu n’avumirira ebikolwa eby’ekko.

Father Kalema asabye abantu okweebuulirira bakyuse ku nneeyisa yaabwe, balekere awo ebikolwa ebirumya abalala, beekube mu kifuba balokolebwe eddembe lya Christo lyeyaleeta mu nsi ng’ayita mukwebonereza okutuuka okufiirira ku Musalaba.
Ono avumiridde ebikolwa eby’okutulugunya banna Uganda, obubbi n’obuli bw’enguzi ebyegiriisa ennyo, neyennyamira nekumiwendo gy’ebintu egyekanamye okukaluubirizza ennyo abantu okwetusaako eby’etaago by’obulamu obwabulijjo.
