Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Wakati Mukweetegekera okujaguza emyaka asatu egya Lions Club eya Masaka, bannakyeewa abatakabanira okutumbula embeera zabantu muby’obulamu, okulwanyisa enjala n’okukuuma obutonde bwensi, bayonjezza ekitundu ky’akatale k’oku Ssaza mu Kibuga Masaka, mukaweefube w’okukuuma obuyonjo.

Lion Joseph Mary Mpoza nga ye pulezidenti wa Lions Club eya Masaka, yakulembeddemu enteekateeka eno, n’akinogaanya nga bwebasazeewo okuyonja akatale Kano, okulaga abantu obukulu bw’okukuuma obuyonjo, okusobola okubeera n’obulamu obulungi.
Ono ategeezezza nga bwebesondamu ensimbi okuyamba abatawanyizibwa endwadde zamaaso, okulwanyisa Cancer mu Baana, n’okugaba emiti mukaweefube w’okukuuma obutonde bwensi, okusobola okubeera mu nsi eyeyagaza buli omu. Abakozi bomukatale ka Ssaza Market abeetabye mukuyonja kuno, basiimye aba Lions Club okubayambako okulongoosa ekitundu kyaabwe, nebasomooza abakulembeze aba Masaka City Council okweesulirayo ogwannaggamba kubuvunaanyizibwa obw’okuyoola ebisasiro mu Kibuga ate nga babajjamu Omusolo.

