Bya Boniface Kizza
Abakulembeze ba district y’e Rakai bategezezza nga bwebabakanye n’eddimo lyokudamu okugemesa ekirwadde kya Covid 19 nekigendererwa kyokutaasa abantu baleme kuddamu kulumbibwa nawokeerwa ono.

Abakulu bano nga bakulembeddwamu sentebe wa district eno Ssekamwa Kaggwa bagamba nti ebimu kubibawaliriza okuddamu okugema covid 19 kwekumalawo amangu eddagala eryabawebwa gavumenti kyokka ng’essawa yonna lyolekedde okuggwako ekintu ekiyinza okufiriza gavumenti ensimbi nga kwotadde okwonoona ensimbi y’omuwi w’omusolo.
Ssentebe Ssekamwa ayongeddeko nategeeza nga nenamungi w’omuntu ayingira eggwanga ngaava kumulirwano e Tanzania naye asuse obungi kale nga kwekusalawo baddemu bakole okugemesa okwekikungo.
Ono ayongeddeko n’akalatira banna Rakai bonna abatanaba kufuna mpiiso esembayo oba esooka okugenda kubulwaliro obusokerwako okwetolola district yonna, era nakinogaanya nga wewatali muntu agenda kuddamu kuyingira mu w’ofiisi yabuvvunanyibwa ngs talina satifiketi eraga nti yagemebwa.
