Bya Boniface Kizza
Nga wakayita ssabiti mbale omukulembeze weggwanga, Yoweri Museveni kyajje akole enkyukakyuka muba RDC saako nabamyuka babwe, abamu kuba nnakibiina ki NRM abatawereddwa bukulu bavvuddeyo n’ebalaga obutali bumativu engeri ebifo bino gy’ebigabibwamu.

Bano nga bakulembeddwamu Florence Owamaria eyavuganyako kukifo ky’omubaka omukyala owa Masaka ‘City’ nga basinzidde ku Sports club mukibuga Masaka mukwogerako n’ebannamawulire, balangidde abakulu mu NRM okubawulangamu abaana n’ebyaana songa bawerezza ekibiina kino ebbanga ddene.
Bongedde n’ebategeeza nga nabo bwekibaluma ekyokulonda abatali banna kibiina okuva kuludda oluvvuganya gavumenti n’ebawebwa ebifo ebyenkizo kyokka bbo n’ebalekebwa ebbali.
Bano batisizatisiza okwabulira ekibiina singa tebalekere awo kubasosola.
Mukwogerako nemunna NRM eranga yakwanaganya enteekateeka ya gavumenti eya operation wealth creation mu Lwengo col. Hussein Ssamba, agambye nti bano tebalina kyamanyi kyebakoledde kibiina kale ng’okubawa obukulu kuba kumala biseera kuba ekibiina kyetaaga abo abakozi.
Florence Owamaria yavvuganya ne Mary Babirye Kabanda DP, Nalunkuuma Lydia FDC, Juliet Kakande munna NUP era gyebyaggwera ng’ono abawangude.