Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Ssaabasajja Kabaka empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda olwaleero, ku mukolo abaami b’amagombolola webeyanzizza okubawa Obwami Mu maaso ge, ng’emikolo gyiyindidde mu Lubiri e Mmengo.

Mu bubaka bwaatisse omumyuka asooka owa katikkiro Dr.Twaha Kawaase Kigongo, nnyini nsi asanyukidde abaami be mu magombolola okutandikirawo emirimo, amangu ddala nga bakalondebwa.
Beene asiimye bano nabawa Pikipiki kapyaata, okubayambako okutambuza emirimo.
Kabaka era yebazizza abaami okutwala obuvunaanyizibwa bwaabwe bulungi mu maaso ate n’okuwa amakula.
Kululwe, Omumyuka wa Katikkiro Asooka Hajji Twaha Kawaase, Akalaatidde Abamagombolola Okukuuma ekitiibwa Kyaabwe nga batuukiriza obuvunaanyizibwa, n’okukuuma ettaka lya Kabaka naddala nga Baliteekako enkulakulana.






