Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri, Asiimye n’awa abantu be ababadde mu Mbeera embi mu Ssaza Kooki, ennyumba ez’okusulamu.

Omukadde Namayanja n’abalala ab’e Kagamba Kooki mu district ey’e Rakai, bebaweereddwa ennyumba ezazimbiddwa Obwakabaka nebannanikago, mu nteekateeka ey’amaka Amalungi okuyamba abantu ba Ssemunywa abetaaga okubeerwa, nabo okusulako Obulungi.
Omukolo ogw’okukwasa abaweereddwa Amayumba gaabwe mu Butongole, gukukoleddwa Katikkiro wa Buganda Ow’ekitiibwa Charles Peter Mayiga ng’akyiikiriddwa Minisita w’amayumba Ettaka era N’ebyobulimi mu Bwakabaka, Ow’ekitiibwa Hajat Mariam Mayanja Nasejje Nkalubo.
Minisita Mayanja Nkalubo asinzidde Kooki n’akubiriza abantu ba Buganda okwewaayo Okukola obuteebalira, okukyusa Embeera z’ebitundu byaabwe n’okulakulanya Buganda.
Ye Omwami wa Kabaka Akwaanaganya emirimu gya Kabaka mu Ssaza Kooki Ow’ekitiibwa Getrude Nakalanzi Ssebuggwaawo, asinzidde wano neyeyanza Beene okwagala abantu be ab’e Kooki ne Buganda Yonna, ng’abawadde obulamu Obulungi ng’ayita mukubajjanjaba, okusomesa abaana baabwe, nga Kati abazimbidde n’amayumba, n’awera kulwabakooki, okuweereza Kabaka obuteerekeramu, era nobutamutiiririra.
Wabula okusooka wabaddewo obunkenke Abavubuka ba Buganda e Kooki, bwebezoobye n’ekibinja ky’abayaaye ababadde bagezaako okulemesa Katikkiro n’abakungu ba Kabaka Abalala okuyingira Kooki, okukola emirimu gya Kabaka, gyebiggweeredde ng’abampembe babuseewo n’ebisago Oluvannyuma lw’ebikolwa byaabwe eby’efujjo okutuulibwa ku Nfeete

Mutebi Farouk Blackman
Twongera okusiima Katonda okutukumira Ayi Bbeene ebbanga lino lyona nga akyasobola okuyiyiza abantu naffe ab’e Kooki natulowoozako muntekateka eyo. Taata nkulopera abatamanya ngamba abagala okukwawulayawula abantu bbo nga bava mu Government eyawakati. Wangala nnyo Kitaffe??