Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Abantu ba Kabaka mu Ssaza Buddu batandise okwejaga n’okuzimba ebiyitirirwa, nga beetegekera okwaniriza Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri, asuubirwa okulabikako eri Obuganda ng’aggulawo empaka z’amasaza ga Buganda ez’omwaka guno 2022.

Essaza Buddu lyeryawangula Empaka z’amasaza eza 2021, bwebawangula Buweekula ku ggoolo 2-0 mu Kisaawe kya St.Mary’s Kitende e Wakiso mu Busiro, Omutanda kyeyava asiima okuggulawo kw’empaka z’omwaka guno kubeere mu Ssaza lye Buddu abawanguzi.
Obwakabaka bw’akakasizza ng’empaka za 2022 bwezigenda okuggulwawo kulwomukaaga lwa Ssabbiiti eno, mu Kisaawe kya Masaka Recreational Grounds nga Buddu ettunka ne Mawogola. Empologoma ya Buganda Ssaabasajja Kabaka y’asuubirwa okuggulawo Empaka zino, nga bw’asiima bulijjo okulabikako eri Obuganda mukuggulawo era n’okuggalawo empaka zino buli Mwaka.
Banna Buddu bamaze dda okwetegekera okwangganga bebavuganya nabo, ng’olukiiko olunaddukanya Ttiimu y’e Ssaza lwamaze okutongozebwa Ppookino Jude Muleke, nga Lukulemberwa Ssentebe waalwo Alosysious Lutaaya, Kayiza Qraish ye Manager wa Ttiimu, Omuyima waayo ye Minisita avunaanyizibwa ku bibiina by’obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo ng’amyukibwa Omubaka wa Kalungu East Francis Katabaazi.
