Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Omubaka omukyala Akyiikirira District y’e Ssembabule Mary Begumisa, akubirizza abantu b’e Ssembabule nebanna Uganda bonna okukuuma obutonde bw’ensi okwewala ebibamba ebijja nga bigwiira abantu.

Gyebuvudde Ofiisi ya Prime Minister yadduukiridde abantu mu bitundu bya Mitete, Mateete ne Lwebitakuli n’emmere, oluvannyuma lw’okukubwa Kibuyaga nemuzira ebyalesse nga bisaanyizzaawo ebirime byaabwe. Abantu mu bitundu bya District y’e Ssembabule bettanira nnyo okulima mu Bisenyi, ate n’okusimba Kalittunsi anyway ennyo amazzi mu Ttaka sso ng’era kizibu okusanga emiti gy’ebibala n’ebikome ebikwaata Kibuyaga, ekibateeka ennyo mu Katyaabaga.
Omubaka Mary Begumisa Yasinzidde mu bitundu gyava eby’e Lwebitakuli, n’akubiriza abantu okusimba emiti, kiyambeko okutaakiriza obutonde n’okubukuuma.

Lwanyaga Faiswal
Webale Kutuwereza munnange