Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Olwaleero Ttiimu y’e Ssaza Buddu ewangudde ekikopo kyaayo eky’okubiri mubyafaayo, eky’empaka z’amasaza ga Buganda okuva lweddamu okuzannyibwa mu mwaka gwa 2004 nga Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri ali ku Nnamulondo.

Buddu yali yasemba okuwangula ekikopo kino mu mwaka gwa 2016, bweyawangula Gomba 6-5 mu Penati, oluvannyuma lw’okulemagana 1-1 mu ddaakiika ekyenda. Essaza lino era lyatuukako ku Fayinolo enfunda eziwera nga liwangulwa, ng’ezimu kuzaakamalirizo zino kuliko Ssingo lweyabakuba 5-0 mu 2015 ne mu mwaka 2018 Ssingo lweyagyiwangula 12-11 mu penati omupiira ogwaali ogwakaasammeeme.
Olwaleero Nnyininsi Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II Yasiimye okulabikako eri obuganda mu Kisaawe kya St.Mary’s Kitende ekisangibwa e Wakiso mu Busiro, okuggalawo empaka z’amasaza ga Buganda ez’omwaka 2021, ng’eno Buddu ewangudde era nekwasibwa ekikopo oluvannyuma lw’okuwangula Ttiimu y’e Ssaza Buweekula 2-0 Mukusooka waabaddewo Omupiira ogw’okulwanira ekifo eky’okusatu wakati wa Bulemeezi ne Mawokota, nga guno Bulemeezi yaguwangudde 1-0.

Oluvannyuma lwa Buddu okuwangula entujjo, ebikujjuko eby’amaanyi, okujaganya n’okuyisa ebivulu kubunye ebitundu bya Masaka na wonna okweetoloola ebitundu by’e Ssaza Buddu ne Buganda Yonna Okutwaalira awamu, ng’abawagizi ba Buddu bayozayoza Ttiimu yaabwe olw’okutuuka ku Buwanguzi. Katikkiro wa Buganda ow’ekitiibwa Charles Peter Mayiga Nzaalwa y’e Buddu, era alabiddwaako ng’ajaganya butereevu mukisaawe e Kitende. Mmeeya w’ekibuga Kampala Ssalongo Erias Lukwago n’abantu ab’enkizo bangi mu Ggwanga Uganda balina Akakwaate n’ensibuko e Buddu era erina obuwagizi bwa Maanyi nnyo.
Essaza Gomba lyerisinga okutwala ekikopo ky’amaza emirundi emingi, nga Lirina Ebikopo 4. Amasaza amalala agawangudde ku Mpaka zino kuliko Kooki eyakiwangula mu 2006, n’abalala okuli BULEMEEZI, MAWOKOTA 2013 n’abalala sso nga waliwo n’amasaza agatakiwangulangako.
