Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Olwaleero abantu ba Buganda bajaguzizza emyaka 67 egya Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II eyazaalibwa Namasole Kabejja Sarah Nalule Kisosonkole ng’ennaku z’omwezi 13-4-1955, mu Ddwaaliro e Mulago. Ku Lunaku Luno Kitaawe Ssekabaka Sir Edward Luwangula Walugembe Muteesa Ow’okubiri yali mu buwangganguse e Bungereza, gyeyali asindikiddwa abafuzi b’amatwale mbu olw’okubajeemera!!

Obwakabaka ku Mulundi guno tebutegese bikujjuko namikolo mitongole okugyagulizaako Omutanda, nga ku Ntandikwa ya Ssabbiiti eno Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga yavaayo n’ategeeza obuganda nti Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka taliiwo ali Mitala wa Mayanja gyeyagenda ku mirimu egy’enjawulo emitongole kulw’obwakabaka bwe.
Wabula Buganda eyise mu bingi mu Myaka 67 egya Ssaabasajja Kabaka, nga bweyali akyaali Mulangira Lugondamajja Obote yalumba era n’akuba Olubiri lw’e Mmengo era n’awera obwakabaka mu ggwanga Uganga mu mwaka gwa 1966, bweyawanggangusa Kitaawe Muteesa gwweyalesa ensi ye, nawanggangukira e Bungereza gyeyakisiza omukono!! Kino kyaleetera ne Kabaka Mutebi eyali akyali omulangira, okumala emyaka emingi naye nga tali mu Nsi ye!!
Mu Mwaka gwa 1993, Kabaka wa Buganda, Ccuucu Lukomwanantawetwamuge Kalalankuma era Omwennyango okutagwa Kivuuvumira Empologoma Ssaabawanguzi, yatuuzibwa ku Namulondo yabajjajjaabe e Nnaggalabi Buddo ng’ennaku z’omwezi 31-7-1993. Kino Kyaddirira okwenyigira obutereevu mu Lutalo olwaleeta Gavumenti ya NRM eri mu Buyinza, abaganda bwebewaayo era nebawaayo buli kimu okulwanirako Yoweri Museveni kati President, eyali Abasuubizza okuzzaawo Obwakabaka bwaabwe. Kabaka wa Buganda yatandika okulamula abantu be, wabula ng’ekyokusoomozebwa ekyamaanyi yali talina Kantu!! Olubiri lw’e Mmengo ne Bulange ebyali byakamuddizibwa, byaali byawambibwa Gavumenti era nga byafuulibwa Nkambi zaamagye!! Abantu ba Buganda obuwangwa bwaabwe empisa n’obulombolombo byaali bitandise okuseembegerera mu bbo, kubanga okubyeeyagaliramu mu Lwaatu kyali kifuuse Kivve era omusango gwannaggomola, nga tebakkirizibwa wadde okubyogerako!!
Wabula Kabaka Ronald Muwenda Mutebi mu Bukulembeze bwe, alwanye okuzzaawo ebyali byaayononeka, era n’awa Abantu be Okweyagalira mu Bwakabaka bwaabwe. Eby’obuwangwa ng’okwaabya ennyimbe, okwanjula n’okwalula abaana bikolebwa. Ng’ayita Mukuteesa, ebitebe by’amasaza n’amagombolola wonna okwetoloola Buganda ebyaali mu Mikono gya Gavumenti byamuddizibwa era Ttaka ly’obwakabaka lingi lizze linunulibwa wadde nga wakyaliwo okusoomozebwa nti ebitebe ebimu mu Masaza n’amagombolola ate osanga Gavumenti yeramuliramu ng’embuga za District ne SubCounty n’oluusi Ebitebe bya Poliisi nga Kwebitudde, olwo abaami ba Kabaka nebabulwa webalamulira!! Waliwo n’ebikolwa eby’okutwala n’okwekomya ettaka lya Kabaka ku Kifuba, ng’ebikolwa bino byeyolekera mu bitundu ebiwerako nga Mawogola-Ssembabule, Butambala, Buddu n’awalala.
Kabaka yazzaawo Obukulembeze bw’obwakabaka obulambulukufu obulungi okuviira ddala ku Kabineti ekulemberwa Katikkiro neba Minisita be, Abamasaza, Amagombolola, Emiruka okutuukira ddala ku Batongole mu Byaalo. Kabaka ataddewo Enteekateeka ez’enjawulo okukulakulanya abantu be ng’enkola ya Mmwaanyi terimba ekubiriza abantu okulima emmwaanyi ate n’okulabirira obulungi Ensuku. Omwoyo gwa Buganda ogutafa guzziddwa mu Bantu ba Buganda nga bawaayo mu nkola eya “Luwalo Lwange” okusobozesa emirimu gy’obwakabaka okutambula. Sso nga baasonda n’ettoffaali okuzimba ekizimbe Masengere ekikolebwako emirimu gy’obwakabaka enkumu, era nga n’ennyumba Twekobe enkulu mu Lubiri lw’empalabwa yaddaabirizibwa okutuuka ku mutindo, kwossa embuga enkulu bulange e Mmengo era nga n’amasiro gaba Ssekabaka ganaatera okumalirizibwa okuddaabiriza, okuva lwegaali gaayokebwa ababi mu March wa 2010!

Kabaka era ataddewo emikutu gy’empuliziganya okuli Radio CBS ne BBS Terefayina, okusobozesa abantu be okufunirako obubaka obuva embuga ate n’okuwa abantu bangi emirimu. Olulimi oluganda lutumbuddwa, nga Pulogulaamu Entanda ya Buganda ku CBS eyitibwamu okusomesa abantu ku Lulimi n’obuwangwa bwaabwe, ate newategekebwaawo n’empaka eziyitiddwaamu okuwa abantu bangi obugagga okuli Ettaka, Amayumba n’abalala Amasomero. Ebibiina ng’ebya Nkobazambogo bitereeddwaawo mu Masomero n’amatendekero okunnyikiza abayizi kukwagala Obwakabaka bwaabwe n’ennono, n’enkola ya Bulungibwansi ennyikiziddwa nnyo okutumbula eby’obulamu n’obuyonjo mu Maka n’ebitundu abantu gyebava, ssaako okukuuma obumu. Kabaka azimbye amasomero mangi okusomesa abaana b’eggwanga okuviira ddala ku Mutendera gwa Primary, Secondary ne University. Waliwo n’ensawo ya Kabaka Education Fund, ng’abaana bangi bayambiddwaako okusoma nga basasulirwa ebisale mu nkola ya Bursary ennamba n’eyekitundu ku Mitendera gyonna.
Nnyini nsi era Yazzaawo empaka z’amasaza ga Buganda mu Mwaka gwa 2004, okutumbula ebitone n’okusobozesa abavubuka okufuna emirimu. Abantu bangi bafunye emirimu mu Ggwanga n’okuzannya omupiira mu Mawanga mangi ag’ebweru ssaako okuwanirira Ttiimu ey’e Ggwanga, nga Bava mu Mpaka z’amasaza. Kabaka yawa n’ekiragiro okugunjaawo enkola enayamba abantu okutumbula obulamu bwaabwe muby’ensimbi n’enkulakulana, era enkola ya CBS PEWOSA n’etandika, ng’ebibiina bingi bitinta okwetoloola Buganda, SACCO z’obwakabaka e Kyaddondo ne Buddu ziwaniridde abantu okutereka ensimbi zaabwe, okwewola okufuna emisomo n’okugaziya emirimu gyaabwe, nga Obwakabaka bulowooza nekukukola Bbanka ey’awamu.
Kabaka atumbudde n’ebyobulamu mu Buganda ne Uganda Yonna, bweyasiima okuyita mu Misinde gy’amazaalibwe ge okuwaayo ensimbi okulwanyisa ekirwadde kya FISITULA mu bakyala, era kati bajjanjabirwa bweerere (mu Buddu bagenda Kitovu Hospital), yawaayo n’ensimbi okulwanyisa obulwadde bwa Sickle Cells era nebugemebwa eri abo abatabulina. Omutanda y’emunnyeenye (Ambassador) wa UNAIDS mu Africa Yonna, nga kino kitongole ekirwana okufufuggaza obulwadde bwa Mukenenya. Ssaabasajja yaweebwa omudaali olw’okukola omulimu guno obulungi, ng’azze akubiriza abantu okweekebeza Siriimu, okumwewala era n’okugoberera emitendera emituufu eri abo abamulina okukuuma emibiri gyaabwe nga tegyikoseddwa nnyo. Beene alagira Abasajja okubeera Abasaale kukulwanyisa Mukenenya, nga beekebeza ate n’okuyamba omwana Omuwala obutakwaatibwa Kirwadde kino, nga babakuuma obutabayingiza mu bikolwa byakwegadanga ng’ekiseera ekituufu tekinnatuuka. Akubiriza abafumbo n’abaagalana okunwyerera ku baagalwa baabwe oba okukozesa enkola ezimanyiddwa eziziyiza okusasaana kw’akawuka akaleeta Siriimu, asobole okufuuka olufumo mu Mwaka 2024 wegunatuukira.
WANGAALA AYI KABAKA. GGUNDAGGUNDA NNYO AYI EMPALABWA NG’OLAMULA ABANTU BO MU NSI YO BUGANDA.
