Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Atwala Eddwaaliro lya Masaka Regional Refferral Hospital Dr.Nathan Onyaki, ategeezezza nga Bwemaze Ssabbiiti Ssatu nga tebafunye Mulwadde wa COVID 19 e Masaka, akabonero akooleka nti ekirwadde bakitudde ku Nfeete.

Ono era ategeezezza ng’ekifo webaali bajjanjabira abalwadde b’emitwe bwekyali kyatwalibwa abalwadde ba COVID 19, olwo bbo ab’emitwe nebasindikibwa e Kyabakuza ewagaziko. Nathan era akinogaanyizza ng’abasawo bwebadde bakalubirizibwa okutambula okugenda okusanga abalwadde e Kyabakuza, nga N’okwegazaanya kutono.
Agasseeko nti engeri gyewatakyali balwadde ba COVID Lumiimamawuggwe, abalwadde b’emitwe basenguddwa okuva e Kyabakuza nebazzibwa mu Ddwaaliro okwegazaanya obulungi mu kifo kyaabwe, n’okufuna okubudabudibwa okusaanidde.
Wabula waliwo obweeraliikirivu olw’obulwadde bw’okutabuka emitwe okweyongedde, nga kino Dr.Nathan akitadde ku bizibu ebingi eggwanga lyebitubiddemu, nga kwekuli n’ebyo ebyava ku Muggalo olw’ekirwadde kya COVID omwali Okweeraliikirira okungi olw’abantu abaali tebamanyi Kiddako, Okufiirwa emirimo, okubulwa ensimbi n’ekyokulya, n’ebirala ntoko.