Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Gyebuvuddeko Kkampuni y’aba China eyaweebwa Contract okukola Oluguudo lwa Broadway Oluva Mu Nnyendo Okutuuka e Kijjabwemi ku Lw’e Mbarara, eya Chongqing International Construction Corporation (CICO) yazimba Ekifo Ekyayitibwa BUS STOP ewawummulira Abasaabaze, ku Luguudo Luno okumpi n’oluguudo oludda e Kyotera ng’oyolekera e Kijjabwemi.

Wadde ng’ekifo kino ewawummulirwa Abasaabaze kyateekebwa wano, naye Mmotoka Tezikkirizibwa kutikkirawo Basaabaze, nga bonna balina balina kulinnyira mu Ppaaka emu yokka eri Mukibuga eky’e Masaka wansi ku Naluddugavu Street. Bweyali atongoza ekifo kino, Mmeeya wa Masaka Florence Namayanja eyali n’omubaka wa Gavumenti atuula Mu Kibuga kino Steven Asiimwe, City Clerk wa Godfrey Bemanyisa, n’abakulembeze ba Division ya Kimaanya Kabonera Bonna okuli Mmeeya Steven Lukyamuzi neba Kkansala yategeeza nti Abasaabaze abavudde kulw’e Kyotera n’embarara nga balinda Boda Boda oba engeri endala ey’okweyongerayo ku Ngendo zaabwe, bebawummulirako mu Kifo Kino nga Mmotoka zzikirizibwa okutikkulirawo Abasaabaze, wabula nga Tezikkirizibwa kutikkirawo.
Mu kiseera wetutuukidde mu Kifo kino Abatambuze abagala okuwummulako babadde batuddewo, kyokka ate nga n’emmotoka ezipakira Abasaabaze ku Luguudo lw’e Mbarara okuli ezitwala abagenda e Kinoni, Mbiriizi ne Kyazanga mu Lwengo, ssaako ezo ezitwala ab’e Lyantonde n’okweyongerayo mpaka Mbarara nga zino okusinga za Kika kya Kyakamunye ne zi “Special” zibadde zikola kinawadda!!
Mu ngeri y’emu neku Luguudo lw’e Kyotera, wabaddewo Mmotoka entonotono ezitikka abasaabaze, mu Ngeri Y’okwebbirira. Abagoba ba Taxi Bavaayo Jjuuzi nebegugunga, nga balemesa enteekateeka eyali ereeteddwa abatwala Kimaanya Kabonera, okuteekawo Ppaaka endala Mu Masaka ku Luguudo luno lw’ennyini nga yakubeera mukibangirizi ekiri e Mabega wa BUS STOP Eyo eyakatekebwawo, ng’abavuzi b’ebidduka e Masaka nga bagamba nti Ppaaka ey’okubiri yali yakubalemesa okukola.
Waliwo ne Stage ya BodaBoda okumpi n’ekifo awawummulirwa (BUS STOP), wadde nga nayo Namayanja yagamba terina Kubeerawo ng’abavuzi ba Bodaboda Bonna baakufunirwa ebifo ebitongole webateeka zi Siteegi zaabwe entongole webanakolera.
