Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Olwaleero munna kibiina kya FDC Lt.Col.Dr.Warren Kizza Besigye Kifefe, awezezza emyaka 66 egy’obukulu. Ono yazaalibwa ng’ennaku z’omwezi 22-4-1956, e Rukungiri mu bitundu bya Ankole mu Ggwanga Uganda.

Dr.Kizza Besigye Musawo omutendeke era Omukugu, ate era munnamagye eyalwana ne President Museveni mu Lutalo lw’e Kiyeekera olwa 1981-1986 olwaleeta Gavumenti ya NRM mu buyinza. Wabula ono oluvannyuma yayawukana ne Museveni ng’agamba nti yava ku Mulamwa ogwabatwala mu Nsiko olw’okwenyigira obutereevu n’obutabaawo kikolebwa ku bikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu, obwannakyemaalira n’okulemera mu buyinza.
Besigye yalangirira mu Mwaka gwa 2000 okuvuganya Mwami Museveni mu Kalulu ka 2001, naggya n’ekisinde ky’ebyobufuzi ekya REFORM AGENDA (RAAAAA) oluvannyuma ekyafuuka ekibiina ky’ebyobufuzi ekya Forum for Democratic Change-FDC, ekimu ku bibiina by’ebyobufuzi ebisinga obunene, amaanyi n’obuwagizi ku ludda oluvuganya Gavumenti ya Uganda. Oluvannyuma lw’okuvaayo n’alangirira okutandika okuvuganya eyali Mukamawe Museveni, Besigye yatandika okusibwa emirundi mingi n’okuggulwako emisango egy’enjawulo, omwali n’ogwo Kasonsomolera ogw’obuliisamaanyi ogwaali gumuteekeddwako mu 2005 mu Kiseera ng’akalulu Kabindabinda, Besigye n’atuuka okudduka okubudama mu Buwangganguse e South Africa kubigambibwa nti yatolokera mu Ggomesi nga yefudde Mukazi!! Ono Oluvannyuma yakomawo mu nsi ye ng’ekyosi kimaze okuyita, era nagenda mu Maaso n’okutambuza eby’obufuzi bye.
Mu January wa 2020, amawulire n’emikutu egy’enjawulo ku mitimbagano gyawandiika nti Dr.Kizza Besigye yawandiikiddwa mu Kitabo ky’ebyafaayo byensi yonna ki WORLD GUINESS BOOK OF RECORDS, nti ye munna Uganda akyasinze okusibwa!! Ono yayinzanga okukwatibwa emirundi egyisoba mu esatu olunaku, nga bwateebwa bwatambulako katono bwaddamu okukwatiibwa, oluusi bwatoloka bwawenjezebwa buto, okuva lweyesalawo okwesogga olwokaano lw’ebyobufuzi ebyakaasammeeme mu 2001 okutuusa 2020 lweyalangirira nti abiwummudde.
Besigye yavuganya Museveni ku Kifo ky’obukulembeze bw’eggwanga mu 2001, 2006, 2011 era n’amuzoganya (ng’enjogera bweri olwaleero) nemu Kalulu ka 2016 Besigye keyalumiriza ng’akakasa nti ddala obuwanguzi bwe bwaali bunyagiddwa. Besigye emirundi egyo gyonna gyeyesimbawo, yalinga akwata kifo kyakubiri era ng’ateeka nnyo Museveni gweyabeeranga naye ku mbiranyi, ku Bunkenke obutagambika. Wabula ajjukirwa nnyo mu Nteekateeka gyeyali azze nayo okusannyalaza Gavumenti ya Museveni bweyali awakanya emiwendo gy’ebintu egyekanamye n’amafuta agakaweereege, n’akunga batambuzenga bigere okugenda ku mirimu, era nebamuwulira, ensi n’esaannyalala obunkenke nebubuna wonna. Besigye yateekebwako amaanyi okukkakkanya embeera eno, era katono afiirwe obulamu bwe.
Mu mwaka gwa 2011 oluvannyuma lw’akalulu, Besigye yata obukulembeze bw’ekibiina kya FDC, nebukwaasibwa Gen.Mugisha Muntu kyokka oluvannyuma eyayabulira ekibiina n’akola ekikye ekya ANT oluvannyuma lw’okuwangulwa Patrick Amuriat Oboi, mukulonda kw’ekibiina okwaddako. Mugisha Muntu mu ANT yagenda nebimu kubikonge ebyali ebyamaanyi mu FDC okuli eyali Omubaka wa Kaseese Winnie Kizza eyakulemberako Oludda Oluvuganya Gavumenti mu Palamenti ya Uganda. Mukalulu akawedde mu Kiseera nga Kabindabinda mu Mwaka gwa 2020, Besigye weyalangirira nga bwavudde muby’obufuzi eby’okuvuganya mu Kalulu nti Kubanga tebikyalina Makulu nga Yoweri Museveni kwaali.
Besigye yawanirira nnyo Oludda Oluvuganya, n’atendeka abantu bangi eby’obufuzi, naawa banna Uganda essuubi okufuna enkyukakyuka mu Bukulembeze, kyokka byonna byaagwa butaka. Mu Kalulu akawedde, abantu obwesige babuteeka ku muyimbi, era Omukulembeze w’ekibiina ekipya ekya National Unity Platform-NUP eyabategeeza babimukwase, kyokka Tebaafuna buwanguzi.
