Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Ab’ekitongole ekituusa obujjanjabi ku bantu ekya KITOVU HOSPITAL, bebawangudde empaka zaba Corparates abava mu bitongole ebiweereza abantu e Buddu, ezaategekeddwa okujaguza olunaku lw’abakyala olubaawo nga Munaana ogw’okusatu buli mwaka.
Ebimu kubitongole ebyetabyeemu kwekuli n’ekyobwakabaka ekiterekera abegassi n’okubawola Ensimbi, ki Buddu CBS PEWOSA SACCO, aba CARITAS MADDO, KITOVU HOSPITAL, DFCU BANK, Eby’empuliziganya, Aba University n’ebirala bingi, nga Radio Buddu yeyategese Omwaka guno, bannabitongole nebasiima eky’okusisinganangako n’okubeera okumpi eri abantu bebaweereza.

Namazzi Leticia nga yewekitongole kya RadioBuddu abategesi, agambye nti okunyweza enkolagana mu bitongole kiyamba okuyambagana n’okutuusa obulungi obuweereza ku Bantu.
Eky’okukuuma emiri emiramu eri abantu bano abeemalira ennyo mu mirimu gya offiisi, abetabyeemu era bakisanyukidde nnyo nebasiima enteekateeka.
Vicent Atwijukire okuva mu ddwaaliro ly’e Kitovu abawangudde empaka z’omulundi guno, akkaatiriza obukulu bw’olunaku luno naddala muby’obulamu bw’abantu.
