Bya Boniface Kizza
Nga bannayuganda betegekera okulonda obukiiko bwabakyala muggwanga ly’onna wamu n’akiiko ka LC 1 akekyalo okunabaawo mukasambula w’omwaka ogujja, ebyalo bingi birabika nga sibyakwetaba mukulonda kuno olw’obutamannyibwa eri akakiiko kebyokulonda.

Omwegezi wakakiiko k’ebyokulonda muggwanga Paul Bukenya gamba nti bakizudde nga ebyalo ebisinga byajjawo mungeri yalukwesukwesu nga era tebagoberera mitendera mituufu okugunjaawo ebyalo bino, kale nti era sibyakukirizibwa kwetaba mukulonda.
Ono ayongeddeko nti ebyalo ebyatondebwawo mu April womwaka gwa 2021 ebisinga obungi biriko akabuzibwa akamaanyi kungeri gy’ebyajjawo.
Wabula tukitegeddeko nti newankubadde ebyalo bino tebimannyiddwa, bulijjo bibadde byetaba buterevu mukulonda okubaawo muggwanga ng’era birina n’obukulembeze obutambuza emirimo. Nabuli kati tekinakakasibwa oba bigendagenda mu maaso n’okusigala nga bikola oba by’akugibwawo.
