Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Kkooti e Masaka eyongezzaayo nate ebiragiro ebikugira omuntu yenna obutetantala kubaako kyakolera wadde okusembera ku ttaka lya Kabaka ery’embuga ya Ggombolola Ssabawaali Mijwala, mu district ey’e Ssembabule.

Omulamuzi Victoria Nakintu eyalambula ettaka lino gyebuvuddeko, abadde asuubirwa okuwa ensala ye leero kuky’okulagira abantu okuli Minisita Omubeezi akola emirimu egy’enjawulo mu minisitule y’ebyobulamu Hanifah Kawooya Bangirana, Omugagga Benon Bulora, Samuel Mushabe, eyali Ssentebe wa Ssembabule Elly Muhumuza, akakiiko ka District ak’ebyettaka n’abalala okwamuka ettaka lino, Kyokka ategeezezza nga bwakyalina ensonga zeyekkenneenya n’okwetegereza ebiwandiiko eby’enjawulo, olwo n’aggumiza ebiragiro ebiyimiriza abantu bonna obutabaako kyebakolera ku Ttaka eryo, okumala ebbanga eritali ggere.
Ettaka eryogerwako lya Ssaabasajja Kabaka wa Buganda erikuumibwa wansi w’obukulembeze bwa Muteesa atwala Essaza Mawogola, liwezaako Square Mile 12, nga Lizingiramu ne towncouncil ey’e Ssembabule.
