Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Eddwaaliro ekkulu erya Masaka regional referral hospital liri mukatuubagiro, olw’ebikozesebwa mukuzaalisa n’ebyetaago eri abakyala abazaala ebitaliiyo okuviira mu mwezi gw’omwenda omwaka oguwedde!!

Bannakyeewa abatakabanira okukyusa embeera z’abantu, okudduukirira abali mubwetaavu n’okulwanirira obutonde bwensi aba Lions Club Masaka City nga bali wansi wa Club ey’ensi yonna, babadde bawaayo ebikozesebwa eri abakyala abazaala nebyeyambisibwa mukuzaalisa eri eddwaaliro lino, Sister Beatrice Mmande nga y’akulira ekitongole ekizaalisa mu ddwaaliro n’ategeeza ng’ebbanga lya Mwaka mulamba ng’eddwaaliro teririna byetaago bino, kyokka nga n’abakyala abajja okuzaala bajja tebalina wadde akantu, ate nga n’ensimbi ezibigula tebazirina, ky’avudde asiima ababadduukiridde.
Wabaddewo n’okugaba omusaayi okuyambako okutaasa obulamu bw’abo abagwa ku bubenje, abavaamu omusaayi omungi nga bazaala ssaako abalwadde abalala abetaaga omusaayi era nga Unit z’omusaayi eziwerako zikunggaanyiziddwa aba BLOOD TRANSFUSION SERVICES okuva muba Lions Club.
John Bosco Ntangaare nga y’atwala club eno mu ggwanga, atongozza LIONS CLUB ey’ekibuga Masaka n’ategeeza nga bwebalafubana okulaba ng’embeera z’abantu zikyuuka, okukuuma omutima ogw’obumu n’okuzimba eggwanga eririna abantu abalamu obulungi era nga bayonjo, kyebavudde bagaba omusaayi ate n’okudduukirira bannakazadde.
Mu bukulembeze bw’ekibuga Masaka obulondeddwa okutwala Lions Club omwaka 2022-2023, Rapheal Kisekka y’alondeddwa kubwa Pulezidenti bwa Masaka n’asuubiza okutambuulira mu buufu bw’okutuukiriza ebiruubirirwa ebikulu ebya Club eno, nga bawaayo okudduukirira abali mubwetaavu, okutumbula eby’obuyonjo n’obulamu obulungi, wamu n’okulwanirira obutonde bwensi.
