Wednesday, 30 Sep 2020

Eddy Kenzo yeweze okuwagira Museveni n’okulemesa Bobi Wine

Omuyimbi munakinku Edirisa Musuuza abangi gebamanyi nga Eddy Kenzo avuddeyo natisatiisa omukelembeze ekibiina kya NUP era Muyimbi Munne Bobi Wine nti Wakuwagira omukurembeze aliko mu kalulu akaddako singa Bobi Wine tarekera awo kumuyisaamu maaso

“Njakuwagira museveni, njakuyiwawo omubiri ate njakubalemesa….” ebyo byebimu kubigambo ebiwurwa nga Kenzo yewera ku ssimu

Eddy Kenzo agamba nti simumativu kungeri Bobi Wine gyayisaamu abayimbi abamanya nga Chemeleon, Geoffrey Lutaaya ne Ronald Mayinja era agamba nti ekigendererwa kya Bobi Wine kwe kusuula abayimbi abanene n’okuanafuya ye asigale waggulu yekka.

” Yagaana okuwagira Chameleon omuyimbi omunene kyokka ate nawagira ba kabakko……Nessaawa ya leero tannaba nakumwogerako. Byeyankola biri byenagamba byenyini byali mukkola nono….atulaga nti tatwetaaga ate bwadda eri nga agira ati, ggwe olowooza ffe tuli bassiru………………….?”

“Bandetera million 600 kukalulu akawedde nenzigaana, oyo omussiru bobi wine yari azimpaddeko? Nga muyimbira ku bwerere ne kyarenga najja nenyimbira bwerere….”

Yayongedde nagamba nti Bobi wine bwafuuka omukulembeze weggwanga, agenda kwewangusa

128 Views

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *