Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Oluvannyuma lw’abantu abakola obulimu obutonotono n’abasuubuzi abakolera ku nguudo okugobebwa mu Kibuga ky’eggwanga ekikulu Kampala mu Nkola emannyiddwa ennyo nga Smart City etambetebwa ennyo Minisita omubeezi owa Kampala Kyofatogabye Kabuye neyali RCC Huud Hussein eyazzibwa kubwa RDC bw’e Yumbe, akalembereza kaasigala mu bibuga ebirala ebikyaakula okuli Masaka, Gulu n’ewalala enkola eno gyetawulirwanga.

Gyebuvuddeko Gavumenti bweyategeeza nga bwereeta Etteeka erirambika obutale, nga muno mulimu akawaayiro akawera abakozi ba Gavumenti bonna nebannabyabufuzi okubeera n’emidaala mu butale bwa Gavumenti, Mmeeya w’ekibuga Masaka Florence Namayanja yategeeza nga bw’awagira Etteeka eryo Kikumi ku Kikumi nti era Bweriyita wakuliiteerawo mu nkola.
Mmeeya Namayanja agamba nti bannabyabufuzi n’abakulembeze abalala okubeera n’emidaala mu butale, bebasinga okunyigiriza abantu baabulijjo ng’abamu bagyibapangisa ku Ssente empitirivu, abalala nebabasindiikiriza nebawunzika nga beetetenkanyiza ku Mbalaza z’ebizimbe nekumabbali g’enguudo. “Kyewunyisa nti Obutale bwa Gavumenti buteekeddwa kubeeramu bantu baabulijjo abeetaga okuyambibwa naye osanga abeesobola nga bebalinako emidaala olwo abantu baabulijjo nebasigala nga tebaweereddwa mukisa, beebo abagobaganyizibwa ku Mbalaza z’ebizimbe nekumakubo” Namayanja bweyateegeza gyebuvuddeko.
Eyali RCC wa Masaka Steven Asiimwe, bweyali tannajjibwa mu Kibuga kino yategeeza nti amangu ddala ng’akatale ka Masaka Centrala Market kawedde okuzimba, abantu bonna abakole emirimu egy’enjawulo naddala abatunda ebibala n’ebirime ssaako ab’obulimu obutonotono baakuteekateekebwa, baweebwe ebifo mu Katale ako ssaako akomu Nnyendo akaatandika edda okukola, mu ngeri etali yakubanyigiriza wadde okubasindiikiriza nga bwekyalabwako mu Kampala, kiyambe okuzimba ekibuga ekiteekateekeddwa obulungi.
