Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Ssentebe wa District y’e Lwengo Ibrahim Kitatta, ategeezezza nga bwatandise okukunggaanya obujulizi okugoba akakiiko akagaba emirimu aka District eno.

Kino kiddiridde okwemulugunya okuva mu bantu ab’enjawulo abazze bakaaba amaziga, nga balumiriza abakakiiko akagaba emirimu okubajjako ensimbi enkumu, kyokka nebatafuna na mirimu gyebaba beteega.
Mu lukunggaana lw’abamawulire lwatuuzizza, Ssentebe Kitatta agambye nti akakiiko kano akalondoobwa eyali Ssentebe George Mutabaazi nga Katuulako abantu okuli Kibuule Deus n’abalala, baviiriddeko emirimu mingi okukolebwa mu ngeri ya gadibengalye e Lwengo, nti kubanga abagyiweebwa abasinga tebalina bukugu bumala, ate nga tebalina namutima gwabuweereza, kubanga emirimu bagyigula na Nsimbi zaabwe.
Ono era akinogaanyizza nga bwatandise okunoonya obujulizi okuva mubanna Lwengo, ng’ayagala Kaliisoliiso wa Gavumenti Betty Kamya atandike okunoonyereza kubavunanyizibwa okuguza banna Lwengo emirimu, abajjibwaako ensimbi zaabwe zibaddizibwe era ng’amaliridde akakiiko ka Service Commission Okukayiwa.
