Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Okufaananako n’amazaalibwa ag’emyaka 66 egya Ssaabasajja Kabaka ag’omwaka oguwedde, n’amazaalibwa ge ag’omwaka guno ag’emyaka 67 Beene yasiimye emisinde egyigenda okuddukibwa, ensimbi ezivaamu zigende mukulwanyisa ekirwadde ekya Mukenenya.

Olunaku lw’eggulo Katikkiro wa Buganda ow’ekitiibwa Charles Peter Mayiga, ng’ali wamu nebanna mukago aba Airtel, yatongozezza obujoozi obugenda okukozesebwa mu Misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka ag’omwaka guno, egyigenda okuddukibwa nga 3 omwezi ogw’omusanvu omwaka guno (3rd-7-2022).
Nyininsi Kabaka, ye Ambasaddor w’ekitongole ekirwanyisa siriimu mu nsi yonna ekya UN AIDS, nga yasiima okubeera omumuli gwaakyo (Ambassador) ku Ssemazinga Africa. Nga 13 omwezi gw’okuna omwaka guno, Ssaabasajja Kabaka Lweyaweza emyaka 67, kyokka tewaaliwo bikujjuko kubanga Omutanda yali Bweru wa Ggwanga gyeyali agenze ku mirimu egy’enjawulo. Mukiseera kino Kabaka Yasiimye ebikujjuko byamazaalibwa ge bibeewo nga 10 omwezi gwa Kasambula, oluvannyuma lw’emisinde nga 3 omwezi ogwo.
