Bya Boniface Kizza
Empaka z’omupiira gw’abawala ezokubaka ezamunabyamizannyo omukukutivu mukibuga Masaka Lubowa Ssebina ngayita mukibiinakye ekya Lubowa Ssebina foundation zituuse kunkomerero yaazo, eranga oluzannyo olusembayo lwakuzannyibwa ku Easther Monday.

Empaka zino nga zatandika n’ettimu 25 wabula nga webutukidde lero kusigaddeko ttimu munaana (8) eranga z’ezigenda okubbinkana olwo kufunibweko omuwanguzi, ttimu eziri kumutendera guno kuliko Samaliya A, Matanga A, Kitengeesa A, Butego A, Kalagala A, Kibisi, Ssrnnyange ne Matanga A.
Mukwogerako n’ebakapputeni bamatimu gano batutegezeeza nga bwebali obulindaala okwenganga ttimu zino olwo baveewo n’obuwanguzi.
Lubowa Ssebina Gyaviira nga y’emutandisi wa tonamenti eno, agambye nti musannyufu okulabanga ebimu kubigendererwa ebyamutandisawo empaka zino ng’okutumbula ekitone kyomwana omuwala, okufunira abantu emirimo, okufunira abaana basale n’ebirala bingi bitukiddwako, olwo nno kwekusaba abantu bonna okweyiwa kukisaawe e Kasana mukibuga Masaka berabire kumpaka zino ezisitudde abakyala n’ebaba batutumu e Buddu n’eyuganda yonna okutwalkza awamu.
Omuwanguzi wempaka zino wakubukawo n’esseddume y’ente, ekikopo kko n’ebirabo ebirala.
