Bya Boniface Kizza
Nga ebula ennaku mbale abaddu ba Allah munsi yonna okumalako omwezi gwa Ramathan, bbo abayisiramu mu disitulikiti ye Bukomansimbi bagwevuma bwevumi olwembeera embi mwebamaliddeko ekisiibo nga olumu batuuse n’okubulwa ekyokulya.

Bano bategezeeza ngebbeyi yebintu eyekanamye ennyo bweretedde abayisiramu bangi okuva kumulamwa ogw’okutukiriza empagi ennya ezibalagirwa mukisiibo omuli okuddukirira abali mubwetaavu bagamba tebasobodde kukikola olw’obwavu bwebalimu mukaseera kano kyoka nga nemiwendo gy’ebintu bipaziddwa nnyo.
Bano okwogera bino babadde basisinkanye abakulu okuva mubwakabaka bwabuganda mukitongole ekikola kubyettaka ekya Buganda Land board bwebabadde bazze okusibulula abamu kubayisiramu abatalina abakuba kumukono omuli bannamwandu n’abakadde. Era bano basabye obwakabaka bwa Buganda buwabule kugavumenti yawakati kungeri y’ebisale y’ebintu bw’eyinza okukakanamu.
Senkulu w’ekitongole ky’ebyettaka ettabi erye masaka Ssaava Bakabulindi Kagimu ategezezza nga kino ky’ebakoze y’engeri yokka Ssabasajja Kabaka gy’ayagala ebitongolebye byonna bikole naddala nga biyamba wamu n’okuddukirira abo abali mubwetaavu.
Amyuka omwami wa Kabaka mussaza Buddu Pokino Mwalimu Kato Abdullah an’enyeza gavumunti obutaavayo kuyamba kubannansi mukaseera akazibu k’ebalimu ng’okubakendereza kumisolo egisusse obolyawo n’abo basobole okw’etusaako by’ebetaaga.
