Bya Boniface Kizza
Abakulembeze b’ekibiina kya National Unity Platform mu kibuga Masaka basattira olwabamu kubawagizi babwe abagenda begatta ku kibiina ki NRM n’abamu nebatuuka n’okugonomolwako ebifo eby’enkizo muggwanga.

Eyakasembayo ye Robert Kambugu ng’ono abadde nnyo kulusegere lwakulira oludda oluwabula gavumenti mu palamenti Mathius Mpuuga Nsamba nga yabadde akolanga omwogezi wa NUP mukibuga Masaka. Kambugu yawereddwa obwamyuka omubaka wa gavumenti e Lwengo, ekintu ekyalesse ebibuuzo bingi mubanna Masaka.
Ensonda ezimu zitutegezeezza nga Nrm bwekozesa abakulembeze ba NUP abalina kyebafuna okuva mu gavumenti okwongera okusika abo bebetaaga kuluda oluvvugaganya.
Bino bijjidde mukaseera ngabavvububuka ba NUP abasoba 120 bamala dda okuvaayo nebegatta ku NRM nga bagamba nga bwebazze bafuna ebizibu okuviira ddala mukulonda naye nga tebafiibwako.
Emabegako, pulezidenti Museveni yavaayo nategeeza akakiiko ka NRM “NRM parliamentary caucus nga wewaliwo bannaludda oluvvuganya gavumenti bangi bekolagana nabo.
Mukwogerako ne Robert Kambugu ategezeeza nga bulijjo bwebabadde bayayaana okuwererezaako mu gavumenti naye nga tebawebwa mukisa nategeeza nti kano kekadde okuwereza banna Uganda.
Tutegeddeko nga mukaseera katono akajja bammemba ba NUP abalala basubirwa okuvaayo balangirire nga bwebegasse ku NRM