Bya Boniface Kizza
Mukawefube w’okusitula nokutumbula ekitone kyomwana omuwala muggwanga, obwakabaka bwa Buganda bwavaayo nenteekateeka yokutandikawo okuvvuganya mu muzannyo gwokubaka nga wano bakuvuganya nga basinziira mu masaza gabwe.

Bino byogeddwa sentebe wabavubuka mu ssaza Buddu eranga yatwala ekitongole kyabavubuka , emizannyo n’okwewumuza Ndawula Innocent, bwabadde akyaliddeko bannabyamizannyo okuva mukitongole kya Lubowa Ssebina Foundation nga kino kyekutte omumuli gw’okutumbula ebitone mu mwana owobuwala nga kiyita mubyemizannyo naddala mumupiira gwabawala mussaza Buddu.
Ono ayongeddeko nti omupiira gwabawala gubadde gulekeddwa nnyo emabega,naye kumulundivguno bazze bamazeeko okutumbula omuzannyo guno ngera enteekateeka yakutandikira kumutendera gwamagombolola era nabasaba okujjumbira.
Ye omuyima wa Lubowa Sebina foundation omukulu Ssebina Lubowa Gyaviira ategezezza nga bwebatandise okwenogera kubibala ebyatandisawo ekitongole kino nga mwemuli okufunira abaana basale saako nokulikiriza tiimu yeggwanga yeggwanga eyokubaka.
Atwala ebyemizannyo mudisitulikiti ye Kalungu Kezironi Kayinga Tadeo atenze abatandisi bempaka zino kyagambye kyakwongera obumu nokusitula ettutumu lyomwana omuwala kuba ebyemizannyo bitambulira wamu n’ebyenjigiriza.




