Bya Boniface Kizza
Abatuuze abasoba mu lukkumi 1000 bano nga bawangalira kukyalo Budda mu muluka gw’ekibinge mu Bukomansimbi b’ebasula kutebukye olw’enkayana z’ettaka nga n’abamu kubannabwe bazze bakwatibwa abantu abagambibwa okuba abakuuma ddembe n’ebababuzaawo olwo n’ebatwalibwa mubifo ebitanaba kutegerekeka.

Wabula bano balumiriza munnasayansi era omutabuzzi w’eddagala kayingo David Ssenfuka ng’ayali emabega w’okubagobaganya abantu bano nga y’ekwasanga ettaka lino bweyaliggula edda nti era lirye booya.
Sentebe w’ekyalo Budda Leonard Kibira agambye nti kituufu abatuuzebe bana bakwatibwa wabula nga naye tanamanya nsonga zibakwasa. Wabula ate ye sentebe w’eggombolola y’e Kibinge Deo Bwanika naye n’akakasa ng’abantu bwebakwatibwa muttumbi wabula n’eyeyama okulondoola ensongeno.
Dr. David Ssenfuuka abatuuze gw’ebalumiriza okuba emabega w’ekkobaane lino agambye nti eby’okwatibwa kw’abatuuze ye tabimanyi era tabirinaako kakwate nti ye amanyi kimu nti ettaka yaliggulo ngennaku zomwezi 4-Dec-2016, era n’asaba oyo yenna alina obukakafu kuttaka lino obuleete. Era n’ensimbi z’eyaliggula bwali obukadde 135, era n’asaba gavumenti obutawuliriza maloboozi g’abantu bakika nga kino nti kuba kivvirako bannannyini ttaka okufiirwa obulindo bw’ensimbi kko n’ettaka ly’abwe songa b’ebannannyini ababa bamannyiddwa.
