Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Masaka eri emu ku bibuga omusanvu ebyatandika nga 1st-july-2020.Ebirala kuliko Arua, Gulu, Jinja, Mbarara, Fortportal ne Mbale.

Abakulembeze b’ekibuga Kino nga Bakulemberwamu Mmeeya Florence Namayanja, baagala okuzimba ekibuga kino okutuukana n’omutindo gw’ensi yonna, nga bavuganya ne Bannaabwe bebaatandika nabo.
Bano batadde essira ery’amaanyi ku kukola enguudo okusobozesa eby’entambula okulongooka n’okukyusa endabika y’ekitundu kino. Eby’entabula by’ekitundu bwebibeera ebirungi, kyanguya enkulakulana naddala okutambuza eby’amaguzi okutuuka mu Butale.
Waliwo ebitundu ebiriraanye Masaka City okuli Masaka district, Lwengo, Ssembabule, Kalungu, Kalangala ne Rakai, ebiriikiriza ekibuga n’ebyamaguzi okuli Emmwaanyi, Amatooke, eby’ennyanja n’ebirala. Obutale okuli Nnyendo Market ne Masaka Central Market akali Mukuzimbibwa, biwa Essuubi Banna Masaka okutundiramu eby’amaguzi byaabwe naddala ebirime okuli Ennyaanya, Obutungulu, Nnaanansi, Green Paper n’ebirala bingi ebiva mu Bitundu ebyakegatta ku Masaka, n’ebitundu eby’ebyalo ebirala mu District ezetoolodde ekibuga Kino.



Gavumenti ng’eyita mu Kitongole Ky’enguudo ekya Uganda National Roads Authority-UNRA, Yawadde Masaka Oluguudo Oluva mu Nnyendo okutuuka e Kijjabwemi Oluwezaako Km 8 nga Luno Luyita Mukibuga wakati okwegatta ku Luguudo Olunene oludda e Mbarara. Obubenje bungi bwagwanga ku Luguudo luno abantu nebafiirwa obulamu n’ebidduka byaabwe, olw’obufunda n’ebinnya ebyali Bifumbekeddemu!! Oluguudo luno Mmeeya wa Masaka Namayanja yategeeza gyebuvuddeko, nti Olukiiko lw’akulembera lugenda kutuula luyise ekiteeso ekikyusa erinnya lya BROAD WAY lyeruyitibwa Kati, lutuumibwe KABAKA MUWENDA MUTEBI II ROAD, nti kubanga lyali Ddoboozi lya Ssaabasajja eryakirizisa Gavumenti okusuumusa Masaka okugyifuula Ekibuga, okuva ku Ddaala lya Municipaali kweyali okuviira ddala mu Mwaka gwa 1968.
Oluguudo olulala Gavumenti lweyakoze e Masaka, lweerwo oluva mu Nnyendo okutuuka e Bukakata okwanguyiza Ebyamaguzi ebiva n’okugenda mu Bizinga by’e Kalangala mu Ssese. Oluguudo lwatoneddwaako ebibumbe ebinyirivu eby’ebisolo eby’omubibira n’ebyomumazzi, okwoleka eby’obulambuzi ebiri mu Masaka n’ebitundu ebigyiriraanye.
Waliwo n’enguudo ezikolebwa wansi w’enteekateeka ya Uganda Support to Municipal Infrastructure Development-USMID wonna okwetoloola ekibuga Masaka okukituukanya n’omutindo ogusaanidde. Ezimu ku nguudo eziri mukukolebwa mu Kaweefube ono, kwekuli HILL ROAD, NAKAIBA-CATHEDRAL ROAD, SSEWAKIRYANGA CLOSE n’endala.



Avunaanyizibwa kuby’ensimbi n’okuteekerateekera ekibuga Masaka, nga ye Kkansala Akyiikirira Division ya Nnyendo Mukungwe Tom Luyobya, yatubuuliddeko nti n’ebitundu eby’egatta ku Masaka okuva mu Byalo nga Kabonera, Kiteredde, Mwalo n’ebirala, byakukolebwamu enguudo n’okuteekebwako amataala, okubituukanya n’omutindo gw’ekibuga kyebafuuka. Balina n’olutalo okukyusa endowooza z’abantu okubajja mu nkola ey’ekyalo okutuuka ku nneyisa y’ekibuga ennungamu, omuli okuzimba nga bagoberera Plan n’okukuuma omutindo gw’obuyonjo.
Obukulembeze bw’ekibuga bw’ateekawo n’ebibinja ebikola ogw’okugogola ekibuga n’okuyonja Kasasiro mu Division ebbiri ezikola Masaka eno, okuli TUMAKAS ne YAMAKAS era nga bateekateeka n’etteeka erya GARBAGE MANAGEMENT ORDINANCE erirungamya abantu n’abakozi mu bifo ku ngeri y’okukwaatamu ensonga ya Kasasiro. Balinawo n’enkola eya Bulungi bwansi buli Lwamukaaga olusemba mu Mwezi, webakwataganira n’abatwala Essaza lya Kabaka Buddu erikulemberwa Ppookino Jude Muleke, nebakunga abantu okwenyigiramu mu kuyonja ekibuga.
Emirimu egy’enjawulo eminene n’emitono, gyigenda bukwakku mu Kibuga kino ng’abantu bakola n’amaanyi buli omu mu busobozi bwe, okubaako kyajjayo naddala mukufuna akasente n’okulwana okuzimba ekibuga kiyitimuke. Emirimu Okuli Amaduuka Amanene n’amatono agatunda CAKALA n’ebyokwambala, gatambula bulungi e Masaka. Obusuubuzi obwalejjalejja omuli n’obutembeyi kwossa Bodaboda nabyo bitinta, ng’abantu tebannatandika kugobaganyizibwa nga bwebiwulirwa e Kampala mu Kibuga ky’eggwanga ekikulu.
Wabula Omubaka wa Gavumenti atuula mu Kibuga kino Steven Asiimwe, yategeezezza nti Amangu ddala ng’obutale bwonna buwedde okuzimbibwa, Abantu balejjalejja bakuteekebwateekebwa bulungi babuyingire, awatali kunyigirizibwa. Ne Bodaboda zaakufunirwa ebifo ebirambikiddwa obulungi okuteekebwa zi Stage sso nga ne Taxi zaafuniddwa Ppaaka eyawamu mwezirina okusinziira okutikka n’okutikkula abasaabaze.
N’abantu Ssekinnoomu batandiseewo emirimu n’okukozesa abalala, okusobola okutumbula eby’enfuna by’ekitundu. Ebizimbe ebipya bizimbiddwa okusobola okujjayo enfaanana y’ekibuga ekinene, era ng’emirimu egy’enjawulo gyiddukanyizibwako. Ekimu kubizimbe ebipya ekitava kumimwa gyabanna Masaka, era ekisanyusa okulaba, kyekya CITY VIEW COMPLEX ekyazimbibwa masekkati g’ekibuga ewaali ekibangirizi ky’ebimuli bya Mmeeya (MAYOR’S GARDENS) n’ekifo abaana webazannyira ekya CHILDRENS PARK, nga kino kigambibwa nti Kyazimbibwa omu kubagagga bomu Masaka oluvannyuma lw’obukulembeze bwa Municipaali eyakulemberwanga Mmeeya Kayemba Afaayo okumuguzaawo ensimbi ezisoba mukawumbi akalamba, era nga kati emirimu gyikwajja.


