Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Essomero lya Maleku C/U Primary School erisangibwa e Kibinge mu district y’e Bukomansibi liremereddwa okukyiikirira district eno e Mbale mu Mpaka z’omutendera gw’eggwanga lyonna, lwa Bbula lya Nsimbi!!

Essomero lino lyawangula ebikopo okuva ku Mutendera ogusooka ogwa Zone, Parish, Subscounty ne District, mu Mpaka z’abaana ez’amasomero ga Primary ez’emisinde, era nga libadde lirina okukyuukirira District ya Bukomansimbi mu Mpaka eziyindira e Mbale mu Kiseera kino. Bano bawanguula n’ekikopo ekigatta empaka zonna ekya Overall Kids Athletics Cup, eky’abaana abali wansi w’emyaka 14.
Oukulu w’essomero lya Maleku era nga ye Ssentebe wabakulu b’amasomero mu Ggombolola y’e Kibinge Kisolo Wilson, asinzidde ku Ggombolola Kibinge mukwanjulira Ssentebe Deo Bwanika ebikopo byebawangudde, nawanjagira abakulembeze okukwasizaako abaana abalina ebitone n’amasomero kuby’emizannyo.
Omubaka wa Bukomansimbi South era Munnabyamizannyo Godfrey Kayemba Solo abadde asuubirwa ku Mukolo guno, naye Talabiseeko. Ye Ssentebe Bwanika nga Musomesa Mutendeke, asuubizza okutandika okuwagira ebitone by’abaana b’ekitundu, n’okugezaako okunoonya obuvujjirizi eri amasomero okutumbula eby’emizannyo.
