Bya Boniface Kizza
Omubaka wa gavumenti omugya mu kibuga Masaka Katende Ronald Kinene emirimo gye agitandikidde mukwemulugunya olwemivvuyo gyasanze mu yaffesi nga gino gy’ekuusa kuttaka.

Ono agamba nti mukaseera akatono keyakamala mu yaffesi fayiro lukunkumuli ezikwata kumivvuyo gyebyettaka zezimulindiridde okugonjoola wabula nga nnyingi kuzo zekuusa kukugobaganyizibwa ku ttaka kyagambye nti siwakuganya muntu yenna agoba abantu ku ttaka.
Kinajjukirwa nti mukukwasibwa yaffesi, Stephen Asiimwe nga yeyali mukifo kino yamukalatira okutunula enkaliriza kukibba ttaka, ebyapa ebijingirire nga kwotadde naabo abesenza muntobazzi.
Wabula ono agumizza banna Masaka okolaganira awamu naye okutuula kunfeeete ebizibu byonna ebifumbekedde kuttaka e Masaka.