Bya Elisa Nicholas Ssekitende.
Ensimbi ezaasaasanyibwa gavumenti okuteekawo Poliisi post mu Bitundu by’e Kasambya mu Ggombolola y’e Nabigasa district ey’e Kyotera zaafa Togge, olw’eyali Poliisi okufuuka e Kifulukwa!!

Twogeddeko n’omu kubatuuze abaliraanye ewaali Poliisi eyasigaza akapande n’ebizimbe ebinaatera okugwa, ng’ono abadde Mukyala Agnes Nakafeero n’atutegeeza nti OC gwebalina yafa ebbanga ddene eriyise, teebabawa mulala nga Kati eby’okwerinda byaabwe biri mu Lusuubo!!
Omu kubakiise abakiika ku Ggombolola y’e Nabigasa Experito Kirembeka, atubuulidde nti abasirikale abaaletebwanga ku Poliisi eno bagaanangayo emirimu nebagyisuulawo, olw’okubeera mu Kyaalo eyo eyo ewala, nebasalawo okugyiggala!!
Kuby’okwerinda by’abatuuze Kirembeka agambye nti bano Poliisi y’e Katana mu Muluka gwa Kijejja wamu n’eva ku Kitebe ekikulu eky’otera, zibatuusako obuweereza
