Bya Boniface Kizza
Munna kibiina kya National unity platform Vicent Luswata ono nga yeyabadde avuganya kukifo ky’obwa guild pulezidenti kutendekero lya Muteesa Royal University ettabi erye Masaka asazeewo addukire mu kooti emutaase okununula obuwanguzi bwe bw’agamba nti bwamunyagiddwako mu nna NRM Kiweewa Joel.

Vicent Luswata agamba nti vvulugu eyetobese mukalulu kano tamulabangako nga muno mulimu akakiiko k’ebyokulonda obutetengerera nga kakola emirimo gyako n’ekatuuka n’okukakibwa okukiriza abatali kunkalala z’abalonzi nabwo okwetaba mukulonda,amagye okwenyigira obuterevu mukalulu negatandika n’okutiisatiisa abalonzi saako okuwaliriza abayizi abatatekeddwa kulonda nabo okulagibwa n’ebalonda nga kwotadde n’emmotoka ezitamannyiddwa w’ezaava okugenda ku campus n’ezitandika okugaba omusimbi.
Ono ayongeddeko n’avvumirira eky’abatwala university eno okufuuka kyesirikidde bino byonna nga bigenda maaso nebatavaayo kukola kuwabula eri akakiiko k’ebyokulonda ku University.
Mungeri yemu, Vicent agamba nti mukaseera kano afuna amasimu agamutiisatiisa okuva munsonga zino kyagamba nti tamanyi kigendederwa kyabakubi ba masimu ate nga bagamba nti akalulu bakawangula mubutuufu.
Akalulu kano akafuuse kagumba wegoge kakubwa kunkomerero y’assabbiti gy’etukubye emabega nga kakomekereza munna National Resistance Movement Kiweewa Joel awangudde nobululu 90 kupasentegi 56.6% olwo munne Vicent Luswata owa Nup n’afuna obululu 69 n’epasentegi ya 43.7%.