Bya Boniface Kizza
Abantu ba Katonda bonna naddala abakiririza mu eklezia katulika bakubiriziddwa bulijo okukulembezanga Katonda bwebaba nga bakuwangula ebyo ebibasomooza so sikuddukira kundagu, bwabadde akulembeddemu missa ku Ssaza parish mukibuga Masaka bwanamukulu wa parish eno Rev.fr. Aloysius Kalyowa agambye nti ensangi zino omuntu bwafuna obuzibu asalawo kuddukira kundagu.

Ono ayongeddeko nti naddala mukaseera kano akekisiibo abantu bonna bandisanye okudda eri Katonda kuba yemunnunuzi yekka era yalina n’enteekateeka zabuli muntu.
Ono talemye kwogera kubizibu ebinyiga banna Uganda mukaseera kano omuli ebbeyi y’ebintu eyekalamye, enddwadde enkambwe saako n’obwavu obufumbekedde mubannansi nga buwunya n’okuwunya nasaba byonna babikwase mukama Katonda.
Akuutidde abakristu okweyisa obulungi naddala nga basemberedde okumalako akaseera kano ekekiisibo wamu n’okuyita obulungi mu mazuukiira gamukama waffe yezu kristu.