Bya Boniface Kizza
Omusumba w’essaza ly’e Masaka Rt Rev.fr.Bishop Serverus Jjumba avvuddeyo n’asaba abakulu b’ekikwatako okusala kumisolo gy’ebintu ebikozesebwa mubulamu obwabulijjo kino kiyambeko okkendeeza ku bbeeyi y’ebintu ekalamuse ennyo ng’ate nebbula lyensimbi lingi nnyo mubantu .

Omusumba okwogera bino asinzidde kulutiko e Kitovu bwabadde akulembeddemu missa y’amatabi nga kano k’ekabonero akalaga entikko y’ekisiibo kyabakiririza mu yesu kristo.
Ono mungeri yemu asabye abakiriza okukozesa ekiseera kino ekyamazukira ga yesu kristu okusonyiwa abo bonna ababakoze obubi mukaseera kano nga mukama waffe yesu kristu bweyakola ng’asonyiwa abo abaali bamukomeredde kumusalaba.
Omwami wakabaka ow’essaza Buddu asinzidde wano n’eyekkokola enguzi, omululu saako obunnanfusi obwefuze ensi eno n’asaba abali mukwenyigira mubikolwa nga bino okukozesa akaseera kano okudda eri omukama nti kuba ebikolwa nga bino tebisobola kutwala ggwanga lyaffe mu maso.
Ono ayongeddeko n’akalatila abakulu abatwala ebyokwerinda muggwanga okukola kuttemu erikudde ejjembe ngalino lisinga kozesebwa bijjambiya n’abasaba okulabukirira embeereno nga tenagwawo, wamu n’okufulumya lipooti kumisango ng’agino mubudde olwo kiyambeko okuvunaana abamenyi bamateeka.