Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Gavumenti ya Uganda esuubizza okwongera okuvujjirira ensimbi muby’obulunzi, n’okunoonyereza ku ndwadde ezitawaanya ebisolo, okusobola okulinnyisa omutindo gwaabyo n’okugaziya akatale akeegasa wano n’ebweru, kiyambeko okwongera ku by’enfuna byabanna Uganda nga bafuna ku nsimbi ezeegasa.

Mu bubaka omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bweyatisse Amyuka Chancellor wa University y’e Kyambogo Professor Elly Katunguka mukuggulawo omusomo gw’abasawo b’ebisolo n’abamakampuni agatunda eddagala lyaabyo nga guno guyindidde ku Brovad Hotel mu Kibuga Masaka, Gavumenti etenderezza omulimu bano gwebakola okuyamba kunnyingiza yabannansi okuyita mubulunzi, bwetyo neyeyama okubakwasizaako naddala kukubangula abakugu n’okuyambako kubyokunoonyereza naddala kundwadde ezitawaanya ebisolo.
Wabula omukenkufu Katunguka alaze obwennyamivu ku mutindo gw’ekiboggwe ogw’oleesebwa abasawo b’ebisolo n’abatunda eddagala lyaabyo, nga kino kisinze kuva kubutatendekebwa Kimala kwebafuna mu Matendekero agatatuukana namutindo, n’ebikozesebwa ebitali mu zi University oba Amabanguliro ga Gavumenti gyebaba bagenze okukuguka, nebawunzika nga baleese obulabe ku bisolo by’abantu n’okubafiiriza.
Minisita w’ebyobulimi n’obulunzi ku Ludda Oluvuganya Gavumenti era nga ye Mubaka akyiikirira Kimaanya Kabonera mu palamenti, omusawo w’ebisolo Dr.Abed Bwanika, asinzidde wano n’anenya Gavumenti okuteeka ensimbi ezitamala muby’obulunzi, ng’omulaka gwonna eguteeka kubyabulimi byokka, kyokka n’obulunzi bulina okuliikiriza obulimi.
Pulezidenti w’ekibiina ekigatta abakugu, abajjanjabi b’ebisolo n’abatunda eddagala lyaabyo mu Ggwanga ki Uganda Veterinary Association Dr.Daniel Kasiibule
