Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Gavumenti ya Uganda etandise kawefube, okunnyikiza enkola y’okufukirira n’okujagazisa abalimi okugyettanira, kibayambe obutafiirwa birime byaabwe, nemukiseera ng’ekyeya kibalumbye.

Mu District y’e Ssembabule Ensimbi ezisoba mu Kawumbi kalamba zezikakasiddwa okuweebwa ekitundu kino, okutuusa ebyuma ku Balimi n’okubasomesa ku nkozesa y’abyo, kyokka n’abantu ssekinnoomu balina okubaako ensimbi zebawaayo okubatusaako obuweereza.
Simon Byarugaba nga Mulimisa wa District ey’e Ssembabule, asinzidde ku Kitebe kya district eno mukusomesa abalimi okwettanira ennima ey’omulembe n’okweyambisa enkola ey’okufukirira ebirime n’ategeeza nga bwebaluubirira abalimi 160 omwaka guno okubayingiza mu nkola ey’okukozesa ebyuma ebifukirira nga balima, balagewo enjawulo eri abalala okulabirako.
Ivan Kawuki nga naye mukungu wa district ow’ebyekikugu naddala kubyuma ebikozesebwa mu bulimi, ategeezezza ng’okufukirira bwekusobozesa omulimi okulima ekiseera kyonna omwaka mulamba, n’asaba Gavumenti okubaako kyekolawo kukwanukula omulanga gw’abalimi, ku byuma ebifukirira n’ebikozesebwa mu bulimi ebirala, ebiri ku buseere.
