Bya Boniface Kizza
Gavumenti ya Uganda esazeewo okuyingira munkayana z’ettaka wakati w’akampuni enkozi y’abutto eya BIDCO n’abatuuze abawangalira muggombolola y’e Bukakata mu district y’e Masaka nga bano essawa y’onna balinze kufuuka mombozze kuttaka ly’abwe.

Ettaka lino erikayanirwa liwererako ddala obuwanvu bwa squaremiles satu 3 nga litudde kubyalo okuli Nakigga, Kasanje, Birinzi, Muddo ne Kiteredde nga kigambibwa nti bano ettaka baly’esenzaako mubukyamu abatuuze ky’ebawakanya.
Mukwogerako n’omubaka wa gavumenti atuula mu district eno Teopista Ssenkungu Lule Nakazibwe, agambe nti bannannyini ttaka abamannyiddwa bali bataano nga kuliko Paul Mukasa, Patriano Matovu, Kavuma Bosco nabalala nga bano baasalawo okuliguza gavumenti eg’ende maaso n’okukolerako emirimu gy’enkulakulana nga kwotadde n’okulimirako ebinazi.
Ono ayongedde n’ategeeza nti abantu bonna abaali kuttaka lino bw’ebasaba baliyirirwe bagende bafune ewalala n’egavumenti ky’eyakola n’ebawa ensimbi ngemaze okubabalirira ebintu byabwe by’onna era n’obukakafu w’ebuli mubuwandiike. Wabula ono mungeri y’emu awakannyiza ebigambibwa nti abatuuze bakola endagano naba BIDCO okubawako yiika 78 n’agamba nti sikituufu.
Abatuuze bo bagamba nti okuva kuttaka sikizibu wabula bagala bafune obw’enkanya nga kwotadde n’okugoberera amateeka.
Ettaka lino eryogerwako kinajjukirwa nti ne minisita w’ebyettaka muggwanga Judith Nabakooba y’esitula natuuka kuttaka lino era byeyasangayo tebyamusanyula. Ono yaleka alagidde abakulembeze b’ekitundu nab’ebyokwerinda okulabanga tewabaawo kiddamu kukolebwa n’akutekebwa kuttaka lino.
