Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Katikkiro wa Buganda Ow’ekitiibwa Charles Peter Mayiga, akubirizza abantu okunnyikiza ennyingo ey’obumu, okuyambagana n’okunyweza enkolagana ey’obwa Sseruganda n’abantu ab’engeri ez’enjawulo, olw’enkulakulana eya Bonna.

Owomumbuga Mayiga yasinzidde ku Mbuga enkulu ey’obwakabaka Bulange Mmengo ku nkomerero ya Ssabbiiti ewedde, ku Kijjulo ky’okusiibulula abasiraamu ekyategekeddwa obwakabaka n’akinogaanya nti enkola mu ddiini n’abantu abamawanga ag’enjawulo y’engeri yokka ey’okutuusa Buganda ku ntikko n’okukulakulanya Uganda ey’e Mirembe.
Katikkiro Mayiga era yasabye bannaddiini obutakoowa kulungammya bakulembeze n’okuvumirira ebikolwa eby’ekko ebyeyolekera ennyo mu Ggwanga lino.
Supreme Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Muhammad Galabuzi, yasinzidde wano, n’akalaatira abasajja okunnyikkiza omulamwa gwa Beene ogw’okubeera abasaale mukulwanyisa Mukenenya nga beekebeza okumanya webayimiridde n’okuyamba omwana omuwala okutaasibwa obutakwaatibwa Kawuka kano, olwo kyanguyize olutalo lw’okukalwaanyisa, ekirwadde kituulibwe ku nfeete.
