Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Kkooti e Masaka ewadde Ekiragiro Minisita Omubeezi akola emirimo egy’enjawulo muby’obulamu Hanifa Kawooya ne banne, baamuke Mbagirawo Ettaka lya Kabaka erya Ggombolola Ssabawaali Mijwala erisangibwa mu Ssaza Mawogola District ey’e Ssembabule.

Obwakabaka bwa Buganda bwaddukira mu Kkooti Ssabbiiti ewedde, ekome ku bantu bano abaawamba n’okutandika okukolera ebintu eby’enjawulo ku Ttaka lya Kabaka, nga bano babadde bazimba emisana n’ekiro ssaako okwonoona ebyo byebaasanga bikolerwa ku Ttaka eryo omuli Ebirime n’ebirala!!
Mukiwandiiko ekyafulumiziddwa Kkooti e Masaka eggulo, Abantu okuli Benon Kutesa Burora, Mushabe Samuel, Elly Muhumuza, Ssembabule District Land Board, Honourable Hanifah Kawooya Bangirana n’abalala Abeegabanya Ettaka lya Kabaka erisangibwa ku MAWOGOLA BLOCK 83 Plot 260 ne 196 balyamuke bunnambiro, obutetantala kuddamu kubaako kyebakolerako wadde okulisemberera okutuusa ng’omusango Omukulu ogwawaabwa okumanyira ddala oba Ttaka lya Nnyininsi Kabaka wa Buganda lweguliwulirwa.
Kkooti era yalaze Olunaku lwa nga 14 Omwezi Ogujja Ogwokuna omwaka guno 2022, okutandika okuwulira n’okweekenneenya Ensonga z’ettaka lya Kabaka lino erya Mawogola nga limu kuby’obugagga ebyaddizibwa Obwakabaka bwa Buganda mu Ndagaano Kabaka gyeyakola ne Pulezidenti Museveni mu Mwaka 2013, okuzza ebyapa n’ebiwandiiko by’obwakabaka ebikwaata ku Ttaka, embuga z’amasaza n’abagombolola n’ebizimbe ebyali byawaambibwa Gavumenti okuviira ddala mu 1966, Obote bweyalumba era n’akuba Olubiri Lw’e Mmengo n’awamba Buganda era n’awera Obwakabaka.

