Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Kkooti e Masaka ekawanggamudde olwaleero, bwesazeewo okuwaayo ettaka Lya Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri ery’e Mbuga ya Ggombolola Ssabawaali Mijwala erisangibwa e Mawogola mu District y’e Ssembabule, eri Minisita omubeezi akola emirimu egy’enjawulo mu minisitule y’ebyobulamu Hanifah Kawooya, Omugagga Benon Bulora, Mushabe Samuel, eyali Ssentebe wa Ssembabule Elly Muhumuza n’abalala, bakolereko byebagala!!

Bano nga beeyambisa akakiiko k’ebyettaka aka Ssembabule district Landboard, besenza ku Ttaka lya Kabaka eryo nebafunako n’ebiwandiiko era nebatandika okukolerako ebintu eby’enjawulo ng’obwakabaka bwa Buganda n’ennyini Ttaka Kabaka wa Buganda!! Mu mwaka gwa 2020 mu Kiseera ng’eggwanga liteereddwa ku Muggalo nga n’abantu tebakkirizibwa kuva mu Maka gaabwe, district y’e Ssembabule yayisa ensimbi obukadde 45, nebatandika okuzimba ekizimbe ku kifo ky’obwakabaka eky’ennono ku Mbuga Kabaka w’alamulira Essaza lye Mawogola (Omwami wa Kabaka ow’e Ssaza Muteesa y’amulamulirako essaza eryo), ekyaviirako bannamateeka bw’obwakabaka abakulemberwa Ssaabawolereza era Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu ow’ekitiibwa David Mpanga okusitukiramu okutaasa ekitiibwa ky’obwakabaka bwaabwe, era ku Mulundi ogwo Kkooti neyimiriza district okulekeraawo okuzimba.
Oluvannyuma abantu ab’enjawulo nga bakulemberwamu eyali Ssentebe ebiseera ebyo Muhumuza, eyali Omubaka wa Ssembabule kati Minister Hanifah Kawooya n’omugagga Benon Burola baatandika okusenda ettaka ku Mbuga ya Ggombolola Ssabawaali Mijwala nebatandika okugobako abantu abaali baweebwa olukusa okuva mu bwakabaka okukolerako emirimu egy’enjawulo ng’okulimako emmere, bbo nebatandika okuteekako ebyaabwe okuli n’okuzimbako ebizimbe, nga bagamba ettaka lyaabwe bwoya, mbu baalifunako ebiwandiiko mu mwaka gwa 2014 era nga balinako n’ekyapa mu Mannya ga Benon Burola eyaguzaako abalala!! Kino kyasitula Obwakabaka okuddamu okuddukira mu Mbuga za Mateeka nate okweekubira enduulu, kyokka ng’okusaba kwaabwe okwokuyimiriza abakolera Ku Ttaka Lya Kabaka ery’ennono, kugobeddwa olwaleero!!
Mu Nsalawo ya kkooti olwaleero, abantu abali ku Ttaka lino Baweereddwa ebbeetu okusigala nga batambuza emirimu gyaabwe egy’enjawulo gyebaddukanyizako, okutuusa kkooti lweriwulira era n’ensalawo eggoye oba ddala ettaka lino lya Nnyininsi Kabaka wa Buganda, ery’ennono era ery’omufuzi ow’ensikirano eririna enkizo okukola emirimu egy’ennono n’okulambika okuva eri nnyiniryo Kabaka wa Buganda. Omwami wa Kabaka Atwala Mawogola Muteesa Muhammad Sserwadda, agambye nti balina Essuubi essaawa yonna okufuna Obuwanguzi nti kubanga balina ebiwandiiko ebituufu ebiraga obwannannyini n’enkizo ya Ssaabasajja Kabaka ku Ttaka lye Lino, era era Bagenda kujulira.
Mu mwaka gwa 2013, Gavumenti ya Uganda yaddiza obwakabaka bwa Buganda ebyapa okuli Embiri, Embuga z’amasaza n’ebitebe by’amagombolola n’emiruka wonna okwetoloola Amasaza e 18 agakola Buganda, mu Ndagaano President Museveni gyeyakola ne Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II, okuzza eby’obugagga by’obwakabaka n’ebifo eby’enkizo omuli n’ettaka ebyaali byawambibwa Gavumenti mu Kiseera Lugondamajja Obote bweyalumba era n’akuba Olubiri lw’emmengo, nawanggangusa Ssekabaka Muteesa era n’awera Obwakabaka, mu Kasambattuko ka 1966.