Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Court enkulu e Masaka eyise Minisita Omubeezi ow’ensonga z’ebyobulamu era Omubaka wa Mawogola West Hanifah Kawooya, eyali Ssentebe wa district y’e Ssembabule Elly Muhumuzza n’omugagga w’e Ssembabule Benon Burola ng’ennaku z’omwezi 28 Omwezi guno, bewozeeko kuby’okulumba, okulemera n’okutwala ettaka ly’obwakabaka ku Kifuba.

Abasatu bano bazze bawerennemba n’obwakabaka era n’okwezooba n’omwami wa Kabaka atwala Mawogola Muteesa Muhammed Sserwadda, olw’okwegabanya ebitundu ku Ttaka lya Kabaka ery’embuga ya Ggombolola Ssabawaali Mijwala e Ssembabule mu Ssaza Mawogola, lyebaleetera ebimotoka okulisenda entekera, nga bagobaganyako n’abantu nga bagamba balirinako n’ebyapa!!
Gyebuvuddeko Ministry y’ebyettaka mu Ggwanga yalagira Benon Burola n’abalala abalina ebyapa ku Ttaka okubireeta bisazibwemu nti kubanga ettaka lino lya bwakabaka bwa Buganda mu Mannya ga Ssaababajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi Ow’okubiri, kyokka ekiragiro kino kyazimuulwa, era ng’ebikolwa eby’effujjo bize bikolebwa abakulu bano omuli okwonoona ebirime n’okutulugunya abantu naddala nga bakozesa ebitongole by’ebyokwerinda.
Emabegako Minisita Hanifa Kawooya yasinziira e Ssembabule n’ayatula n’akamwa ke ye Kennyini nti Ettaka ly’e Mawogola okuli n’erya Ggombolola Ssabawaali Mijwala okuli n’ekitundu awali eddwaaliro lya Gavumenti erya Ssembabule Healthy Centre IV lya Nnyininsi Kabaka yennyini, oluvannyuma lw’okukakasa nti obwakabaka bw’abalaga ebiwandiiko ebituufu ebikakasa kino.
