Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Kkooti e Masaka etaddewo olunaku lwa 31 omwezi guno, okuddamu okuwulira okusaba kw’obwakabaka, okuyimiriza emirimu egyigenda mu maaso okukolebwa ku Ttaka lya Kabaka erya Ggombolola Ssabawaali Mijwala, e Mawogola mu district y’e Ssembabule.

Gyebuvuddeko, Kkooti y’emu eno yakkiriza abantu ab’enjawulo okuli Minisita omubeezi Anifah Kawooya, eyali Ssentebe Elly Muhumuza, Benon Burola, Samuel Mushabe n’abalala okukozesa ettaka eryo, bwebagyitegeeza nti baalifuna mu Butuufu era balinako ebiwandiiko.
Obwakabaka bwawakanya ensalawo ya Kkooti eno era nebuwaayo okujulira kwaabwo, kkooti kwekkirizza okuwulira. Omwami wa Kabaka atwala Mawogola Muteesa Muhammed Sserwadda, atugambye nti balina essuubi okufuna obuwanguzi, era tebasobola kuterebuka wadde omulundi n’ogumu okutaasa ekitiibwa kya Kabaka waabwe.
