Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Nnewankubadde nga kkooti enkulu e Masaka yafulumya ekiwandiiko ekiyimiriza abantu bonna okulekerawo okusemberera n’okwongera okubaako kyebakolera ku Ttaka lya Kabaka erya Ggombolola Ssabawaali Mijwala ku nkomerero y’omwezi oguwedde nga 30-3-2022 emirimu egy’enjawulo gyibadde gyikyagenda mu maaso era ng’abaaliwamba balemye okulivaako.

Abakulu muby’okwerinda e Kampala n’abakola ku Nsonga z’ebyettaka mu Ggwanga baamaze kulagira aduumira Poliisi mu Greater Masaka Paul Nkore alagire atwala Poliisi e Ssembabule Ben Mugerwa ateekese ekiragiro kya Kkooti mu Nkola era annyonnyole ebirimu abantu bonna babitegeere, ekintu ekikoleddwa olwaleero.
Ono asomye ekiragiro Kyonna kigambo ku kigambo nebivvuunulirwa abantu obutasigalamu kakunkuna, n’akinogaanya nga bweyaweereddwa ebiragiro okuva nemu bakamaabe waggulu, obutakkiriza muntu n’omu addayo kukijeemera nate era ng’avuddeyo bukukuubira okutuukiriza kino.
Omwami wa Kabaka atwala essaza Mawogola Muteesa Muhammed Sserwadda, assizza ekikkoowe n’ategeeza ng’abwafunye Essuubi amateeka okulamula n’okuzza ekitiibwa kya Kabaka mu Ssazalye lino, nti kubanga babadde ku bunkenke ng’abampembe tebakyabaganya kufuna kubwekyuusizo, wadde omwagaanya okulamula mu Buyinza Kabaka bweyabawa!!
