Bya Elisa Nicholas Ssekitende
Buli biseera enkuba bwetonnya, abantu mu bitundu eby’ebyalo n’ebibuga baba kubwerinde obw’okufuna ebirwadde ebiva ku bukyafu, ebitigomya banna Uganda n’abamu nebatuuka okulugulamu obulamu.

Ebimu ku birwadde ebisinga okwegiriisa ky’ekirwadde ky’omusujja Gw’ensiri (Malaria) ekisinga okuva ku bisaalu n’amazzi aganjaala mu bidiba, emikutu n’emyala oluusi abantu byebalemwa okuyonja, olwo ensiri nezaalula nezitandika okubajojobya. Mu birwadde ebirala mwemuli Ekiddukano (Diarrhea), okulumwa embuto okusesema n’endala nkumo ezekuusa bukyafu nga zisinga kusaasanyizibwa obuwuka obutambula ennyo mu budde bw’enkuba era ng’okusinga obuwuka buno buleetebwa ebintu ng’ensweera, Envunyu n’ebirala ebyagala ennyo ebikyafu.
Gyebuvuddeko abatuuze mu bitundu bya Kigangazzi Towncouncil mu district y’e Bukomansimbi mu Ssaza Buddu, bekozeemu omulimu okuyonja ekitundu kyaabwe, mwebayonjerezza n’eddwaaliro lyaabwe erya Kigangazzi Healthy Centre II, obutale n’emidaala gyebatundira ebintu ewaabadde tewafaananika, ng’obuligo bususse!! Akulembera towncouncil (Mayor) Yasin Kawuma, yeyakulembeddemu abatuuze be okweyonja n’ategeeza nga bwebalina okwefubako bokka bulijjo okuyonja ebitundu byaabwe n’amaka gyebava, nti kubanga mu biseera bino eby’enkuba ebirwadde byegiriisa nnyo, ng’ate bikosa batuuze bennyini nga nabwekityo bateekeddwa bulijjo okwekemba, nga bakuuma obuyonjo okusobola okutangira endwadde eziyinza okubonoonera ensimbi ate oluusi n’okufiirwa obulamu.
